Nabeeranga munda eyo
Mu kyalo, ng’ennaku ennuma
Eky’obugagga kyokka kye nalinawo
Bulamu na kitone kyange
N’okusoma kwange eh
Lwa Katonda, n’olukisakisa
Ensi bw’ekufunza
Akusaasira ogamba y’anaayamba
Nze abalala bannimba
Nakizuula late, nti bakuusa
Bansuulira nkonge mu kkubo labayo
Bannyongera obulumi, nennyolwa
Mukama gye wanzigya nga wala yeggwe
Muzadde ow’ekisa
Nz’atalina bazadde bombi gwe n’oba
Muzadde ow’ekisa
Ensi bwe yali ng’eganye wayamba
Muzadde ow’ekisa
Tonvangamu gwe maama, gwe taata
Muzadde ow’ekisa
Ensi yakwata yonna
Nanoonya ayamba, nga wa!
Emikwano bwe gyanta gyonna
Mukama teyadduka ye
Ng’ensi ekuyuuya (musabe)
Yagamba tokoowa
Tokaaba (musabe)
Wadde abaseka bangi
Tofaayo (musabe)
Akuwanguze
Mukama gye wanzigya nga wala yeggwe
Muzadde ow’ekisa
Nz’atalina bazadde bombi gwe n’oba
Muzadde ow’ekisa
Ensi bwe yali ng’eganye wayamba
Muzadde ow’ekisa
Tonvangamu gwe maama, gwe taata
Muzadde ow’ekisa
Tewenyoomanga, ah
Ensi bweba
Bizibu bikuyambenga
Obe omuyiiya
Abaseka baleke
Ddamu leero amaanyi
Ssubi lyo lyonna liteeke
Eri Mukama, nga nze
Tewenyoomanga, ah
Ensi bweba
Bizibu bikuyambenga
Obe omuyiiya
Abaseka baleke
Ddamu leero amaanyi
Ssubi lyo lyonna liteeke
Eri Mukama, nga nze
Mukama gye wanzigya nga wala yeggwe
Muzadde ow’ekisa
Nz’atalina bazadde bombi gwe n’oba
Muzadde ow’ekisa
Ensi bwe yali ng’eganye wayamba
Muzadde ow’ekisa
Tonvangamu gwe maama, gwe taata
Muzadde ow’ekisa
Mukama gye wanzigya nga wala yeggwe
Muzadde ow’ekisa
Nz’atalina bazadde bombi gwe n’oba
Muzadde ow’ekisa
Ensi bwe yali ng’eganye wayamba
Muzadde ow’ekisa
Tonvangamu gwe maama, gwe taata
Muzadde ow’ekisa
Mukama gye wanzigya nga wala yeggwe
Muzadde ow’ekisa
Nz’atalina bazadde bombi gwe n’oba
Muzadde ow’ekisa
Ensi bwe yali ng’eganye wayamba
Muzadde ow’ekisa
Tonvangamu gwe maama, gwe taata
Muzadde ow’ekisa