Onnyambanga Mukama ne nkukwatako
Ekiseera kya kaseerezi
Onnyambanga omukono n’onkasukira
Kubanga ŋendera ddala
Gano amalala g’ensi mangi ganemeddemu
Sitaani y’anfukamiza
Emitego gya sitaani gintega lunye
Nange ne nduyingira
Ba nabbi ku nsi bangi baweze ntoko
Nabo ne bambuzaabuza
Ba nabbi ku nsi bangi baweze ntoko
Abalala banoonya kya kulya
Nze onnyambanga omukono ne nkukwatako
Ekiseera kya kaseerezi
Onnyambanga omukono n’onkasukira
Kubanga ŋendera ddala
Emirembe n’okusanyuka n’okulya buli kimu
Mu lusuku Eden
Nga tetumanyi kirungi na kibi okuggyako okulya
Mpozzi n’okuba ng’okumba bukunya
Ekibala baakirya
Ekibala baakirya
Olwo ne bamanyirawo obulungi n’obubi
Ekibala baakirya
Ekibala baakirya
Awo ne bamanyirawo obulungi n’obubi
Emirembe n’okukyakala
Ebyo sitaani yabituggyisaako
Emisango gye yawakula olwayita mu Eva
Obulumi n’okukazana n’okufuuyibwa empewo
Bitubengako olw’ekikolimo
Nze onnyambanga Mukama ne nkukwatako
Ekiseera kya kaseerezi
Onnyambanga omukono n’onkasukira
Kubanga ŋendera ddala
Amalala g’ensi mangi gannemeddemu
Sitaani y’anfukamiza
Onnyambanga Mukama ne nduwangula
Olutalo lwa dunia ooh!
Emirembe n’okusanyuka n’okulya buli kimu
Mu lusuku Eden
Nga tetumanyi kirungi na kibi okuggyako okulya
Mpozzi n’okuba ng’okumba bukunya
Emirembe n’okukyakala
Ebyo sitaani yabituggyisaako
Emisango gye yawakula olwayita mu Eva
Obulumi n’okukazana n’okufuuyibwa empewo
Bitubengako olw’ekikolimo
Abalyammere amaaso gatukanuse
Tutidde amaanyi g’okufa
Jangu otukwateko otuwe emirembe
Vva mu Ssayuuni
Gw’alina obusungu obw’ensonga lamuza kisa
Abaddu bo tuzikirira buno buwejjere, njala, ntalo
Endwadde ezitaaliwo
Tulibalabira ku ki abatuufu
B’otusindikidde anti bangi?
Bakubagana mpawa
Kye tunoonya ly’ekkubo okutuuka gy’oli
Naye omutuufu y’ani?
Nze onnyambanga omutuufu n’omusongako
Ondoosanga obulabe ne mbulaba
Olutalo lwa sitaani ne ndulinnyako
Amagezi ga sitaani mangi
Emirembe n’okusanyuka n’okulya buli kimu
Mu lusuku Eden
Nga tetumanyi kirungi na kibi
Okuggyako okulya
Mpozzi n’okuba ng’okumba bukunya
Emirembe n’okusanyuka
Ebyo sitaani yabituggyisaako
Emisango gye yawakula olwayita mu Eva
Obulumi n’okukazana n’okufuuyibwa empewo
Bitubengako olw’ekikolimo
Nze onnyambanga omutuufu n’omusongako
Ondoosanga omutuufu ne mmulaba
Olutalo lwa sitaani ne ndulinnyako
Amagezi ga sitaani mangi
Nze onnyambanga omutuufu n’omusongako
Ondoosanga obulabe ne mbulaba
Olutalo lwa sitaani ne ndulinnyako
Amagezi ga sitaani mangi
Onnyambanga Mukama ne nkukwatako
Ekiseera kya kaseerezi
Onnyambanga omukono n’onkasukira
Kubanga ŋendera ddala
Nze onnyambanga Mukama ne nkukwatako
Ekiseera kya kaseerezi
Nze onnyambanga omukono n’onkasukira
Kubanga ŋendera ddala
Emirembe n’okukanyuka n’okuba buli kimu
Mu lusuku Eden
Nga tetumanyi kirungi na kibi okuggyako okulya
Mpozzi n’okuba ng’okumba bukunya
Emirembe n’okusanyuka
Ebyo sitaani yabituggyisaako
Emisango gye yawakula olwayita mu Eva
Obulumi n’okukazana n’okufuuyibwa empewo
Bitubengako olw’ekikolimo