Jonah Pro

Njagala twezimbire akazigo ku mwezi
Babiri tubeere eyo
Charginga eryanda, n’ebikondo bisseeko
Akaliro tekavaako
Eppeesa nyweza n’akasipi mu kakondo
Obwana bulaba tebundyawo
Ntunuulira naye ebisige tobisitula
Nvaako tontabulira obwongo
Emmere nnyige akawuuwo tokabikkula
Nataddeko ekinyeebwa luwombo
Kwata mpola essiyaani zijja kwatika
Eno enkota yiyo ekiwagu totunuulira

Nze nebwenkulaba sirikukkuta
Ondeeta mululu ssiba nga nasimattuka kkunsa
Baby kima love yo egenda kummenya
Ondeeta mululu ssiba nga nasimattuka kkunsa
Nze bwenkulaba sirikukkuta
Ondeeta mululu ssiba nga nasimattuka kkunsa
Baby kima love yo egenda kummenya
Ondeeta mululu ssiba nga nasimattuka kkunsa

Mukwano bwentyo bwensuze
Eno mu kimugunyu
Nga nfumba love yo ngitegeke
Nkedde ku makya, nga mpulira kibulamu
Nga njagala ojje nkuloopere, bae babe
Eno ebivaavava mbitegese
Nfumbye n’oluvuutu lwo ndusaaniise
Eno my baby nze nesettinze
Njagala okomewo nga nepimpinze
Obudde bwebunangoba naye nga nze
Saagala kuseguka yeah yeah

Ondeeta mululu ssiba nga nasimattuka kkunsa
Baby kima love yo egenda kummenya
Ondeeta mululu ssiba nga nasimattuka kkunsa
Nze bwenkulaba sirikukkuta
Ondeeta mululu ssiba nga nasimattuka kkunsa
Baby kima love yo egenda kummenya
Ondeeta mululu ssiba nga nasimattuka kkunsa

Walaayi onzita nzenna nakusiriwala
Ne Mukama andaba
Eno embalabe ku ttama ejja lwa mukwano
Gwe nina ogujjuza eppipa
Ekiro nanyiize nga sinakulaba n’ebiyenje nebitya
Empewo empisa bubi nga sinnakulaba
Appetite erinnya nenjoya tuta
N’obuwoomi bwago sikyabuwulira
Yeggwe birungo byenina ebigawoomesa

Nze nebwenkulaba sirikukkuta
Ondeeta mululu ssiba nga nasimattuka kkunsa
Baby kima love yo egenda kummenya
Ondeeta mululu ssiba nga nasimattuka kkunsa
Nze bwenkulaba sirikukkuta
Ondeeta mululu ssiba nga nasimattuka kkunsa
Baby kima love yo egenda kummenya
Ondeeta mululu ssiba nga nasimattuka kkunsa

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *