Yeah eh
Na na na na
Oooh ooh oh
Omutima
Guno gumponye gummenya
Oooh
Oh yeah, eh
Omwoyo omuluvu
Gwe gugya mu mubiri omunafu
Mukama nkusaba (nsaba) ogumponye
Mbe mumativu n’ekyo ky’ompadde
Ne bwe mba mu bansinga
Nneme kuwankawankanga
Wadde (Yadde) sirina nnyo nnyo
Naye ate, siri bubi nnyo
Bwe neeraba ndaba
Nga ndi bubi nnyo nnyo nnyo
Naye eyo gye mpitira
Ndaba bangi abanneegomba
Olwo ne neebuuza
Lwaki abalyammere tebasima?
Entasiima ebula agiwa
Kye nva nsaba Mukama
Ampe omutima ogusiima
Omwoyo omuluvu
Gwe gugya mu mubiri omunafu
Mukama nkusaba (nsaba) ogumponye
Mbe mumativu n’ekyo ky’ompadde
Ne bwe mba mu bansinga
Nneme kuwankawankanga
Wadde (Yadde) sirina nnyo nnyo
Naye ate, siri bubi nnyo (oooh)
Bwe tubeera obubi nnyo
Twegayirira, ne tusaba
Otujune mu maya
Otuwe obulamu obwesiimisa
Mukama nakusaba, akagaali n’okampa
Kati njoya ppikippiki
N’emmotoka eyo ngirookeera
Mukama omutima ogwo
Omutima ogwo ogutasiima
Mukama omutima ogwo
Omutima ogwo nze lwaki togumponya?
Omwoyo omuluvu
Gwe gugya mu mubiri omunafu
Mukama nkusaba (nsaba) ogumponye
Mbe mumativu n’ekyo ky’ompadde
Ne bwe mba mu bansinga
Nneme kuwankawankanga
Wadde (Yadde) sirina nnyo nnyo
Naye ate, siri bubi nnyo
Ooh Jaaah, ooh
Ooh Jaaah
Gong Records
Gye nkola bampa abiri
Naye ate bwe mbalabalamu no no
Ziggwera mu ntambula
Mukama nsigala sirina
Kati njagala ogw’ana
Anti class erinnye
Nkyuse ku ssimu
Ngule ne ku ngoye
N’omukyala akyuse enviiri
Mukama omutima ogwo
Omutima ogwo ogutasiima
Mukama omutima ogwo
Omutima ogwo nze lwaki togumponya?
I have worked, done everything
Achieved a lot but they are not enough
All I’ve got is not enough
Is not enough ‘cause am not satisfied
Nange nfubye nkoze buli kimu
Ebirungi ompadde naye nkyayagala
Ne bwe nfuna ebirungi ebingi ennyo
Era Mukama ndaba nkyayagala
Omutima omuluvu gwasuula Saulo
Ne Yuda, mu matigga
Kati nsaba onnyambe
Ontaase nneme okululunkana yeah
Omwoyo omuluvu (omwoyo omuluvu)
Gwe gugya mu mubiri omunafu (omubiri omunafu)
Mukama nkusaba (nsaba) ogumponye (ogumponye nze)
Mbe mumativu n’ekyo ky’ompadde
Ne bwe mba mu bansinga (ne bwe mba mu bansinga)
Nneme kuwankawankanga (oh oh oh)
Wadde (Yadde) sirina nnyo nnyo (sirina nnyo nnyo)
Naye ate, siri bubi nnyo (siri bubi nnyo)
Omwoyo omuluvu (omwoyo omuluvu)
Gwe gugya mu mubiri omunafu (omwoyo omunafu)
Mukama nkusaba (nsaba) ogumponye
(Omwoyo, omwoyo gwange)
Mbe mumativu n’ekyo ky’ompadde (eh eh eh)
Ne bwe mba mu bansinga (ne bwe mba mu bansinga)
Nneme kuwankawankanga (nneme)
Wadde (Yadde) sirina nnyo nnyo (sirina nnyo nnyo)
Naye ate, siri bubi nnyo (siri bubi nnyo)
Waakiri mpaayo omulala
Waakiri mpaamu omulala
Guno gwe nina guntamye
Sisiima no no
Waakiri mpaayo omulala
Mukama mpaamu omulala
Guno gwe nina guntamye
Sisiima no no
Waakiri mpaayo