Omwoyo (omwoyo)
Omwoyo
Wuuyo ayita mu kibiina
N’omukono gwe oguwonya (Yesu)
Akutte n’ekitala mu ngalo ha!
Buli mulabe wo amukakkanye (Yesu)
Wanika emikono waggulu
Omusabe akusumulule (akusumulule)
Batimaayo teyasirika
Bwe yawulira nti wuuyo ayita

Omwoyo (omwoyo we)
Omwoyo (ali wano kati)
Mmuwulira (mmuwulira)
Mmuwulira (ali wano kati)
Omwoyo, omwoyo, omwoyo (omwoyo we)
Omwoyo we (ali wano kati)
Mmuwulira (mmuwulira)
Mmuwulira (ali wano leero)

Batimaayo teyasirika (teyasirika)
Bwe yawulira nti Yesu ayita
Gasajja gaamugamba asirike (eh)
Batimaayo teyasirika
Nti Yesu Katonda wange (Katonda wange)
Mwana wa Dawudi onsaasire
Yesu akola ebyewuunyo (nsaasira)
Nva wano nga nange ndaba (nsaasira)

Omwoyo (omwoyo we)
Omwoyo (ali wano kati)
Ali wano (ali wano)
Mmuwulira (Mmuwulira )
Ali wano (ali wano leero)
Nze mmuwulira
Yeah yeah eeh
Mmuwulira

Omwoyo
Omwoyo
Wuuyo ayita mu kibiina
Gwe omulwadde kwata ewakuluma (kwata)
Tuwanike emikono waggulu
Omwoyo w’Omutukuvu (waali)
Ani awulira empewo mu kibiina?
Omuliro ate abamu enkuba
Mpulira enkuba
Abalwadde muwona
Weereza enkuba etunaazenaaze ffenna

Omwoyo (omwoyo we)
Kaddemu awo (ali wano kati)
Ali wano (mmuwulira)
Mmuwulira, mmuwulira, mmuwulira (ali wano leero)
Wanika emikono (omwoyo we)
Waali (ali wano kati)
Mpulira enkuba (mmuwulira)
Batunaaze, batunaaze (mmuwulira)
Nsaba otunaaze (ali wano leero)

Omwoyo

Submit Corrections

One thought on “Omwoyo Lyrics – Pr. Wilson Bugembe”
  1. Hope u a truly Gods’ true agent coz i am really in luv wiz this song pliz do His work wiz truthfullness

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *