Omwaka Omukadde Lyrics – Violah Nakitende

Violah
Mukama nkusaba abalabe bange bonna
Obaleke mu mwaka omukadde
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo

Ebyo ebikolimo eby’ababi bonna
Bisigale mu mwaka omukadde
Mukama golola omukono gwo kuba
Bye mpiseemu bingi mu mwaka omukadde

Ku mulimu gye nkola abalabe bangi
Nsaba basigale mu mwaka omukadde
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo

Taata obutafuna bambi ne nfiirwa
Nkusaba bisigale mu mwaka omukadde
Mukama golola omukono gwo kuba
Bye mpiseemu bingi mu mwaka omukadde

Mukama wampa engalo eziyiiya olaba nkola
Nkusaba emitego gye nteze gikwase
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo

N’abatalina, abangi bonna
Nkusaba taata, obasseeko omukono gwo
Mukama golola omukono gwo kuba
Bye mpiseemu bingi mu mwaka omukadde

Mukama Naalu yayagala nsiraane
Nkusaba asigale mu mwaka omukadde
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo

Mukama Katonda nkuwadde omwoyo gwange
Ompe obukuumi nga ssirumbwa balala
Mukama golola omukono gwo kuba
Bye mpiseemu bingi mu mwaka omukadde

Mu guno omwaka omupya
Nfune emikwano egingasa
Eginkulaakulanya nneme kubula
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo

Mikwano gyange bambi eginkuuma
Nsaba obawe obukuumi nabo obubamala
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo

Guno omukadde gubadde nga ttanuulu
Ooh mbadde ng’ali mu ttanuulu, hmm!
Mukama golola omukono gwo kuba
Bye mpiseemu bingi mu mwaka omukadde

Uh bbiri abiri, ye tabadde mwangu
Nkusaba abiri mu gumu ebeeremu omukisa
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo

Taata munnange omukisa gwange
Nguteeka mu mikono gyo egy’okufuna
Mukama golola omukono gwo kuba
Bye mpiseemu bingi mu mwaka omukadde

Nsaba okumanya Katonda wange n’otegeera
Nfune okuganja wamu n’obuganzi
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo

Taata swaza abo abamanyi nti sisobola
Njagala obalage nti nange nsobola
Mukama golola omukono gwo kuba
Bye mpiseemu bingi mu mwaka omukadde

Bangi bangi eyo bangi abeegulumiza
Njagala obalage osobola
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo

Wattu wayogedde amawanga gonna bwegasula
Nkusaba eggwanga likyuke mu mirembe
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo

Omusajja gwe nina Mukama gw’eyamumpa
Nkusaba omunkuumire mu myaka emirala
Mukama golola omukono gwo kuba
Bye mpiseemu bingi mu mwaka omukadde

Mukama ne baggya bange bonna bonna
Basigale mu mwaka omukadde
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo

Kino ekirabo nze kyenina Viola
Ne nnyimbira abantu walaayi
Mukama golola omukono gwo kuba
Bye mpiseemu bingi mu mwaka omukadde

Mukama Katonda Kagingo nnyini byonna
Namugereka yeggwe atalemwa
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo

Guno omwaka omupya
Nsaba nange mbeere mupya
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo

Submit Corrections