Omwaka Guno Lyrics – Dangelo Busuulwa ft. Luther T

Yesu Habimana
Umwaka yose
Gumberere mukisa
Cyane

Omwaka guno bwoba ng’osumulula omukisa
Tandikira ku nze
Nkusaba kimu Mukama bwoba ng’okola
Tandikira wange
Omwaka guno bw’oba ng’ogaba ebirungi
Tandikira ku nze
Nkusaba kimu Mukama bwoba ng’okola
Tandikira wange

Nze waliwo embeera gye nkooye
Mu bulamu bwange
Nkeera ku makya omulimu ne ngunoonya
Ntegekere abaana bange
Olwo ne nsiiba nga neetawula oh
Obudde okuziba
Ssaawa y’okunnyuka etuuka
Nga n’ezinzizaayo awaka sirina
Landlord naye anninze
Ku mwezi ambe bubi nnyo
Mikwano gyange, baganda bange
Bwe bakyala ayomba
Mpulira embeera ngikooye
Oh no no no
Nsaba Mukama ontaase nange
Imana yangye

Omwaka guno bwoba ng’osumulula omukisa
Tandikira ku nze
Nkusaba kimu Mukama bwoba ng’okola
Tandikira wange
Omwaka guno bw’oba ng’ogaba ebirungi
Tandikira ku nze
Nkusaba kimu Mukama bwoba ng’okola
Tandikira wange

Yeah Mukama
Nkusaba ntemera oluwenda
Nsobole okugenda mu maaso oh oh
Abangigganya nabo bangi
Nkusaba obaswaze
Mukama ng’onkolera nze yeah yeah eh
Wallet yange, nayo enejjula
Abaana bange banaasanyuka
Ne mukyala wange aneegiriisa
Nga lwaki nedda?
Kubanga Mukama nkwesize
Ogenda kunkolera aah aaah, ooh

Omwaka guno bwoba ng’osumulula omukisa
Tandikira ku nze
Nkusaba kimu Mukama bwoba ng’okola
Tandikira wange
Omwaka guno bw’oba ng’ogaba ebirungi
Tandikira ku nze
Nkusaba kimu Mukama bwoba ng’okola
Tandikira wange

Blessed fi di Holy Jah
Dangelo, Luther T pon di tune again
Paddyman eh!

Nsaba ompe omukisa leero (aah)
Ogaziye n’ensalo zange (yee)
Nga bwe wakola Jabez (aah)
N’ogaziya n’ensalo ze zonna (yee)
Radio Tarsis (aah)
Enaaba egamba nti naggwaamu
Nga Radio Nineveh (yee)
Ng’eyogera Dangelo is blessed

Omwaka guno bwoba ng’osumulula omukisa
Tandikira ku nze
Nkusaba kimu Mukama bwoba ng’okola
Tandikira wange
Omwaka guno bw’oba ng’ogaba ebirungi
Tandikira ku nze
Nkusaba kimu Mukama bwoba ng’okola
Tandikira wange x 2

Oooh ooh oh
Tandikira ku nze eh eh
Aaah aah ah
Tandikira wange
Oooh ooh oh
Tandikira ku nze
Aaah aah ah (Katonda wange)
Tandikira wange (eeh eh)

Submit Corrections