Sebatta munnoowo nze nkukaabiza olukoba
Mazima bwemutaazinemu ndigabanya n’abaana
Kw’eno endongo gye nsimudde
Ŋenda okusoggola omweru
Lwa nkwe zaalina ennyingi
Luno mbatadde mu guitar
Ze bajja beemasagga nazo
Mbalangire okulimbalimba
Baddugavu bannange ensi gye tulimu etunyize
Naye tuyizeemu ki bw’obalabala emyaka?
Ng’omweru atunfuŋŋamyeko
Baatuyita mu ddiini ne tujaganya okufugwa
Wabula eky’omuteeru ennyo baawerekerwa mmundu
Ng’Africa ejjirwa omuteego
Beebeluliranga omwo n’ebiragiro
Ebifuga twabikwata lwa buwaze
Olwo n’entalo z’eddiini
Abaaliwo mirembe egyo ne zibabutaabutanya
Ne mu myaka gy’enkaaga
Okututeera eby’obufuzi baatupangira mpalana
Omuzungu oyo!
Omweru y’ajja n’entegeka ezitukonzibya obwongo
N’okufa okuyitiridde ennyo kwameruka lwa mweru
Oba nga gwe omuyita munno
Baagereka n’emyaka omuntu kw’alina okukoma
Nga n’empeke ezireetwa nazo twekomerera ndwadde
Kye tuyita okuyambibwa ennyo
N’okuzaala kw’omuddugavu ye kimuwa okunyolwa
Kye bava bayiiya ennyo okutugumbula enzaalo
Pills ne bazisomba
Be baleeta n’endwadde ezitusabisa ebikoba
Balabe we munaava era okufukumula abaana
Omuddugavu oli ku musango
Batuva erudda n’erudda
N’entalo baleeta wano n’otuga ne gw’ozaala
Be baleeta ne firimu ez’otubangula
Okwetta mu ngeri gye betaaga
N’emizannyo gy’abaana mu maka
Ziba mmundu na kucangacanga biso
Lwa muzungu oyo!
Kyennyamiza okulaba abaali balina obwongo
Nga kati tetukyafaayo tweyinudde n’omweru
Eyajja wano okutaagula ensi
Nga n’okuvumbula okwaffe baakulinnyamu ekigere
Mulabe bwe tukyaniriza nga batulimya ppamba
N’ensaamo ne tuzisuula
Ebiragala ebyaffe ebyali bituwa obulamu
Byonna twabivaako lumu ne tuganza lya mweru
Webuuze alitabula atya?
Laba abakadde ab’ekyenda bwe batannama abawere!
Lwaki tekibeewo nga bagamira ntakera
Agaweke ago lukweka byama
N’obwavu obuyitiridde wano
Zonna mpisa za mweru y’abututetenkanyiza
Anyumirwa abatakkaanya
Bw’afuna ekinaabessa ng’akibakakaatikako
Ky’ekikyaya n’abafuzi ng’ababigika
Entegeka okunyigiriza afugibwa
Abasajja abo!
Baddugavu bannange abeeru batuzinzeeko
Tuli mu kabi leka mbaloope
N’obuwangwa babusensedde
Kaakati abakongojja nga balina n’amasabo bangi
Okumanya baagala ssente
Eriyo Omukunjani asawula bakyala mu Kiganda
Kya nneesibya ne gomesi ntuukeko e Kinaakunya
Mwerabireko tebatulimba
Ekikubansiko ekyabwe osooka kugula ggaali
Ewa kyeruppe munne bakugange
Abakazi basiiba awo nga basaba enzaalo
N’ebisingawo ebirala bingi
Sso nga yakola katego ka kubaguza ggaali
Ezaamudibako nze kye nazudde
Akyusa n’obulago abalabi ne bakkiriza
By’abumbujja mbu ye Kibuuka
Ate nga bamwagala okamala
Kitalo bannange!
Lwaki tetukyayawula?
Abaddugavu twabaaki?
Kati nkunga baafirika mweggyemu endowooza ezo
Ezituyingizanga mu bitimba
N’abakulembeze baffe mukomye obutakkaanya
Ababakozesa ebyo mubakyawe
Mulonde n’omufuzi omu akulembera Africa
Ekyasa ekijja lwe kiriwooma
Naye bwemutateese mulijula ebyange
Bye mbayimbira nga bwemuŋŋoola
Baddugavu bannange okwetunuuliza emmundu
Tekitugasa emirimu mingi
Ekintu ky’obuteegatta kiyitimula abeeru
Ne kitusiba wano mu bwavu
N’okwetemaatemanga wano olw’endowooza z’eddiini
Ye nnabe eyafulula amawanga
Tuwagire bannaffe mu kusuubula ng’okwo
Nga ne gavumenti bwe ziyamba
Okusinga okutumbula abeeru
Bo ne bafuna ne ssente
Tulina okuwagira ebyaffe
Ekyo kisinga okutumbula abeeru
Bo ne bafuna ne ssente
Tulina okuwagira abaffe okwezimba