Omuzimu Gwa Nankya Lyrics – Mercy Crow

Verse I
Abataka b’ebibuga abange mwanguwe
Ab’e Bukunja mujje wano nze nabayise
Bino bisaana ne Faaza agenda ku kigo
Ewa Mercy Crow omuzimu gujja mu kiro
Mwana muwala omwaka gwawera yafa
Baamuziika mu nkokoto eri gguluggulu
Mercy okuziika kwannemesa saamanya kibi
By’ebimu ku by’ammanja ate nga taseka

Chorus
Oli muzimu Nankya wummula ondeke
Engeri gye wafa omukwano gwayonooneka
Ndabira kafaananyi ko kaakano ndeka
Nsabisa kisa linda gyoli gye nzija
Oli muzimu Nankya wummula ondeke
Engeri gye wafa omukwano gwayonooneka
Ndabira kafaananyi ko kaakano ndeka
Nsabisa kisa linda gyoli gye nzija

Verse II
Ba ssebo abakyalonda mwekaza omanyi
Zino malaaya z’ekibuga ziyakaayaka
Ba ssebo abakyalonda mwekaza omanyi
Zino malaaya z’ekibuga ziyakaayaka
Mercy nagula wa lunaku ampummuze ekiro
Nga mutuuza mu ggaali twegolomola
Ku Speke Hotel n’ono we yali
Nga tugula n’omuchomo tusika bifi
Yali muntu wa mboozi nze nno bwe nseka
Wabula yabuuza nnyo kye nkola amanye
Ategeerera waka ebifaananyi nina
Nti ye Mercy Crow eyakuba ebbomba n’enyuma
Ndayira bukya mbaawo Mukama anjune
Okugula malaaya gwegwo ogwakulembera
Emabega naganzaako abawala bana
Kibi nga balimba nnyo ssente ze balya
Nankya kye yava annyumiza nga tuli awaka
Mbu eby’abasajja on’onsonyiwa nga sibimanyi
Empaka ne ziddirira laavu ya kito
Era namala ne nkakasa Nankya wansuba

Verse III
Ndayira bukya mbaawo Mukama anjune
Okugula malaaya gwegwo ogwakulembera
Emabega naganzaako abawala bana
Kibi nga balimba nnyo ssente ze balya
Nankya kye yava annyumiza nga tuli awaka
Mbu eby’abasajja on’onsonyiwa nga sibimanyi
Empaka ne ziddirira laavu ya kito
Era namala ne nkakasa Nankya wansuba
Kye manyi mukyebuuza nange bwe nali
Omuntu eyali yetunda linda topapa
Mazima munewunya nange bwe nali
Omuntu eyali yetunda linda topapa
Mbu yatoloka mu Kigo kw’olwo lw’abula
Anoonye ku bazadde be ekigo kimunyiye
Busente ne bumuggwako obudde ky’ekiro
Kwe kukozesa omubiri baabuwe ajunwe
Ko nze ofuuse munnange era wano wuwo
Ne Nankya n’akkiriza kyamusanyusa
Lwe yagenda n’ewaabwe kw’olwo mulabe
Wummula nkumissinga wabula awaka

Chorus

Verse IV
Yadde yandaga olunaku okudda twegeye
Engeri gy’aliba atuuse mu bakulu awaka
Nankya yandaga olunaku okudda twegeye
Engeri gy’aliba atuuse mu bakulu awaka
Olwo lwe yali akomawo mwana lwe yafa
Mu kabenje ka mmotoka baasesebbuka
Yali ne brother ono oyo no teyafa
Nze ne nfuna ekiyongobero saava na waka
Bwe nalinda n’atajja ko nze ka mute
Alidda lwaliba ategese wiki bwe yagwa
Mu yokusatu ndi ewange neebase ekiro
Emmese yasooka emu enneetegereza
Eyokubiri n’enkanga yajja bw’eseka
Enju kwe kuyuuguuma ne nfuna otulo
We ndabira ne Nankya bw’asula mu bafu
Wummula nkumissinga linda lwe ndifa

Verse V
Abaziisi ba Nankya mwebale naye
Gye mwamuziika yaddukayo ewange gy’asula
Abaziisi ba Nankya mwebale naye
Gye mwamuteeka yaddukayo ewange gy’asula
Mulabira mu nnyumba yajjula envunyu
Bw’amala ate n’akyuka n’adda we yali
Kati ebigambo by’akozesa laavu gy’asaba
Wummula nkumissinga Nankya tonsika
Kaakati no ky’ammanja ntino kikolwe
N’okuganza yaŋŋaanye era awo n’awera
Mbu gw’alisanga mu nju wano kw’olwo lw’alifa
Ate luno lw’akomawo bingi by’alina
Bataka mulinda nfe nammwe munjune
Muzimu tuguzzeeyo guwuluguma
Yiii! ba sheya mulinda nfe nammwe munjune
Muzimu tuguzzeeyo guwuluguma
Mercy Crow bukya nnyimba tenda bye nkuwa
Mwefuge abalonderera ensi nzibu ddala

Repeat chorus until fade

Submit Corrections