Leero amazina ndeese ga muswaaba sirina
N’ekiwato kyangayadde (yee)
Abaana bammaze morale
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Munaazikuba oba tugendere awo?
Omanyi ssikyeguya nnyo
Naatyabula amateera (yee)
Abaana bammaze morale
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Munaazikuba oba tugendere awo?
Omanyi ssikyeguya nnyo
Ŋŋamba engalo abalungi (yee)
Naatyabula amateera nze
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Kati kuba eŋŋoma empeweevu
Ng’ate ssi ya ggayaalo
Wadde nina obusungu (yee)
Ngya kuyomba mbiibyamu mpola
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Owaaye engalabi yo embuze
Ennyumidde mwana wange
Kululi nali nginyoomye (yee)
Okubye bulungi mwana wattu
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Guno omulembe guntanudde
Omulembe gwa dot com (yee)
Gwe gunzigye e buziizi
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Ŋenda ne mbasiriikirira mmwe ne mulowooza
Nti obwongo bwantalagga (yee)
Mbeera mbalaba gyendi mu kamooli
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Omuzadde n’asasula fees ogende osome mukwano
Gwe n’odda mu kulaaya (yee)
Ne gy’osomera otuuka lw’oyagadde
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Omusomesa asomesa omuyizi
Nga gw’asomesa munnange ali ku WhatsApp (yee)
Kyemuva mufuna retake
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Musomesa asomesa omwana
Nga gw’asomesa munnange ali ku Facebook (yee)
Ng’alaba bya kiseegu
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Kusiiba mu malodge
Bibanda bya firimu mukeera bikeere (yee)
Mbu muba mulaba bu soap
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Omuzadde n’asasula fees ogende osome mukwano
Gwe n’odda mu kulaaya (yee)
Mbu oli ku banno ofunisa mbuto
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Weetegese otya Nambeeguya?
Ku biseera byomumaaso (yee)
Okusoma tawaaza yennyini
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Otegese otya Sembeeguya?
Ku biseera byomumaaso (yee)
Future yo ogikotoggedde!
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Oludde ku ssomero wattu
Ate laba olutuuka eka otuukira ku ttivvi! (yee)
Aah ah yamba ku muzadde
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Gwe oliyiga ddi emirimu nnyabo?
Nga n’akaleega bakakwoleza! (yee)
Nga n’obuwale bwo omukozi y’ayoza!
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Aah abaana mubatuuze
Mubatendekenga n’okutya Katonda (yee)
N’amagezi gasookera omwo
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Naawe gavumenti taata
Tukusaba ssebo tugunjule ku baana (yee)
Tuwone ab’obutayimbwa
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Omwana tomutuuzizza
Ne gy’asomera asoma na bagwiira! (yee)
Njagala okimanye nti obuwangwa bwawuka
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Kati omusuubira kuba atya?
Ng’ewaabwe wa mukwano gwe balya bawanda (yee)
Ky’ava asalawo n’asitama ku mmere
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Mulala baamutuma jjiiko yaleeta kitiiyo
N’ajuliza mbu ye tabyawula! (yee)
Olifumbirwa wa Nankanja?
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Emmere olugijjula omuwala ateeka ku ssowaani
Nga yeekuba kisenge kye (yee)
Mbu alya ali ku internet
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Omwana tafunye amugamba
Nti mwana wange gaaya bwoti (yee)
Kyova olaba ng’alya aswankula
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Era nno tafunye amugamba
Bagaaya kimomozo emimwa giwumbe (yee)
Omukazi tasitama ku mmere
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Nkaabira nsi yange nnyabo
Nkaabira Uganda yattu (yee)
Omulembe nze gunsobedde!
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Lwo Oluzungu mulufuuwa
Musinga ne bannyini lwo nze sikigaana (yee)
Kati muyige n’okuwaata ku mmere
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Naye Oluzungu mwalukoppa
Musinga ne bannyini lwo nze mbeebaza (yee)
Kati muyige n’okutyaba ku nku
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Era amasimu wattu mugakwata
Muganyiga n’okukira abaagakola nnyabo (yee)
Kati muyige n’okusala ku njala
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Onootukula otya nno gy’onaabira?
Nga ku ngalo enjala namulimi yennyini! (yee)
Kyemuva muwunya anti
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Owange emisomo bw’oligivuunika (yee)
Olifumbirwa wa namagwatala? (yee)
Nga ne w’oliridde okutegula kwalema
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Omulungi katukulinde
Olyejjuukiriza odibidde bwemage (yee)
Omucaafu baana battu nga tagendeka
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Producer Brian
Nandujja Foundation
Mikwano namulabako omuwala
Nga mwana muwala yagwatala
Ng’alinga ekidiba
Abange omwana w’omusajja oli yagwatala
Nga mwana muwala yagwatala
Ng’alinga ekidiba
Munnange okusoma olwalema
Nga mwana muwala yagwatala
Ng’alinga ekidiba
Nga yeefunira musajja yefumbize
Nga mwana muwala yagwatala
Ng’alinga ekidiba
Mu butuufu omwana w’omusajja nga yalungiwa
Nga mwana muwala yagwatala
Ng’alinga ekidiba
Naye nga n’obucaafu bwanoga
Nga mwana muwala yagwatala
(Weebale nnyo)
Ng’alinga ekidiba
Okuyomba obuyombi nga gwe bapangisa
Nga mwana muwala yagwatala
Ng’alinga ekidiba
Twamubuulirirako awo n’atukooyesa
Nga mwana muwala yagwatala
Ng’alinga ekidiba
Yatweddiramu nti wa dot com
Nga mwana muwala yagwatala
Ng’alinga ekidiba
Nti bino ebyaffe bya kizeeyi
Nga mwana muwala yagwatala
Ng’alinga ekidiba
Wenjogerera obufumbo bwalema
Nga mwana muwala yagwatala
Ng’alinga ekidiba
Ali eri atunda kaboozi
Ne ba customer ngamulina ennaku
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Owange omundabiddeko eyo mumugambe
Nti obulungi bwamulimba (yee)
Bitambulira wamu obulungi n’empisa
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Nze wamma baana bange kambatuuze
Muyige empisa n’obuyonjo (yee)
Obulungi tebubalimba
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Abatabani mbagambye (yee)
Abange muyige okuyiiya
Temutuga abazadde olw’okuba ensimbi
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Abazadde mutuyambe
Obuvunaanyizibwa temubusuula (yee)
Munnange ky’osiga era ky’olikungula
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Abasomesa abalungi
Abange nammwe mutuyambe (yee)
Musomese abaana okwetandikira emirimu
Mu kifo ky’oginoonya
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Katonda tumusinze
Kubanga ye tawaaza (yee)
Wamma etumulisiza ekkubo
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Mulembe gwa kusaanya nsi
Abange ka nkome awo
Abuulira omugezi sazze keesa (yee)
Mubundabira nnyo obulenzi bwammwe
Guno omulembe gw’akaco kano gwa dot com
Naye mubukuule mpola
Mulembe gwa kusaanya nsi