Huuuuu…
Heeeee…
Ndi wano ndowooza bwe wanjagalanga
Nzijukira bwe wambiita bambi
Nzijukira bwe wammatizanga omukwano
Kyokka nga yo essaawa
Tedda mabega tekyakyuka
Bwentyo bwe nzijukira omukwano guli ndwala
Omukwano ogw’edda aah
Aliva wa alinjagala nga ggwe?
Omukwano ogw’edda aah
Aliba ani alimbiita nga ggwe?
Omukwano ogw’edda aah
Simanyi oba gulidda
Related: I’m Still Here Lyrics – Juliana Kanyomozi
Ebyonno bimmazeeko obugezi
Era mpulira nsobeddwa
Kati kansale na busazi magezi
Kuba mpulira ŋenderera
Ninga empologoma
Enoonya omwana gwayo
Empuuna malungu,
Mu ddungu ly’omutima gwange bwe ziwuuna
Bwentyo ndi wano
Enjuba yange tekyayaka
Ndowooza omukwano ogwedda
Eeh mukwano ogw’edda aah
Aliva wa alinjagala nga gwe?
Eyo laavu ey’edda
Aliba ani alimbiita nga gwe?
Omukwano ogw’edda aah
Simanyi oba gulidda
Also Read: Kats-Fille love is no more
Hee eeh, eeh
Simanyi okimanyi kye ŋamba gwe
Ng’olina omuntu gwe wayagala edda
Gwe wasiima n’oganza
Omutima nga tegunnaba kukoowa nnyo
Ebiddawo tebyenkanankana anti
Yadde abalungi ndagala nnamu mwattu
Naye omuntu eyakusensera obwongo
Teyesonyiyika
Omukwano ogw’edda aah
Aliva wa alinjagala nga gwe?
Eeh! Eyo laavu ey’edda
Aliba ani alimbiita nga gwe?
Uuh! Omukwano ogw’edda aah
Aliva wa alinjagala nga gwe?
Eeh! Eyo laavu ey’edda
Aliba ani alimbiita nga gwe?
Eeh mukwano ogw’edda aah
Related: Olindaki Lyrics – Lydia Jazmine
Simanyi oba gulidda
Gwagenda, gwagenda
Simanyi oba gulidda
Ogw’ennaku zino gulimu amakoona
Simanyi oba gulidda
Oba omutima gwamenyeka
Gunyige, gunyige
Simanyi oba gulidda
Byo ebirungi bwebityo
Tebiggwa buwoomu so
Simanyi oba gulidda
Simanyi, simanyi, simanyi, simanyi
Simanyi oba gulidda
Simanyi, simanyi, simanyi, simanyi
Simanyi oba gulidda
Eeh ih
Eeh ooh