Mpulira akawoowo
Ak’omukwano gwo Yesu
Mpulira akaloosa
Ak’okubeerawo kwo dear
Waliwo nze lwe mpulira ng’ebizibu binnyinze
Ate nga ndi bw’omu
Waliwo ne lwe mpulira ng’obulumi bungi
Amaziga ne gampitamu naye omukwano gwo
Guneerabiza bye mpitamu Yesu
Munnange omukwano gwo
Gundeetedde emirembe mu mutima

Omukwano ogwa Yesu
Mpulira nga guntwala
Omukwano ogwa Yesu
Guneerabizza ebikadde mwe mpise
Omukwano ogwa Yesu
Mpulira nga guntwala
Omukwano ogwa Yesu
Guneerabizza ebikadde mwe mpise

Mukama omukwano gwo
Ssigugeraageranya na mukwano gwokunsi
Omukwano gwo Yesu
Wagundaga ng’owanikibwa ku muti, eeh
Ndowoozaamu emiggo egyakubwa
N’engule ey’amagwa ng’eri ku mutwe
Ne ndowooza engeri
Gye wanyooma okuswazibwa kubanga onjagala
Mukama omukwano gwo
Gunseensedde emmeeme n’omutima gwange
Munnange omukwano gwo
Gunsingidde ab’eŋanda n’emikwano gyange

Omukwano ogwa Yesu
Mpulira nga guntwala
Omukwano ogwa Yesu
Guneerabizza ebikadde mwe mpise
Omukwano ogwa Yesu
Mpulira nga guntwala
Omukwano ogwa Yesu
Guneerabizza ebikadde mwe mpise

Mukama omukwano gwo
Gulinga ensulo ez’amazzi agatakalira
Omukwano gwo
Gulinga amazzi agawonya enkalamata
Ne nsena nze ne nnywa
Olwo omwoyo wange, n’afuna emirembe
Omukwano gwe ŋamba gw’olina gyendi
Gwakuteeka mu ntaana
Mukama omukwano gwo
Gusumuludde abantu mu bizibu byabwe
Munnange omukwano gwo
Gwe gunsingira, n’ogwa maama anzaala

Omukwano ogwa Yesu
Mpulira nga guntwala
Omukwano ogwa Yesu
Guneerabizza ebikadde mwe mpise
Omukwano ogwa Yesu
Mpulira nga guntwala
Omukwano ogwa Yesu
Guneerabizza ebikadde mwe mpise

Eeeeeh
Aaah, ogwa Yesu
Aaah, ogwa Yesu
Gunneerabizza ebikadde mwe mpise
Aaah, ogwa Yesu
Aaah, ogwa Yesu
Gunneerabizza ebikadde mwe mpise

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *