Diamonds Dinah
Producer Andy
Yeah
Nkuze ndaba, kati mmanyi
Bye boogera ssi bituufu
Mbu bwe zikusooka tezikuva mabega
Gwe lagaya ojje olabe ensi kyeri
Ennaku eruma, n’otoba
Lw’olwadde n’ekyokulya lwe kibula
Embeera nga yakutte wansi w’eggulu
Ne wakati awo n’enywezaawo, ojula okufa
Nze ebyo nabikoowa ne nnoonya Mukama
Era namulaba
Mazima namufuna
Omukisa gwa Mukama gw’agaba
Tekuba buyinike (tekuba buyinike)
Enzigi nga zaguddwawo
Tewaba aziggala (tewaba aziggala)
Kati on’onyiigira ani?
Nze yampa bugagga
Ate akyagaba
Nyiikira kusaba obudde bwe bulikya
Enjuba eveeyo
Mukama gw’agaba
Tekuba buyinike (tekuba buyinike)
Enzigi nga zaguddwawo
Tewaba aziggala (tewaba aziggala)
Kati on’onenya ani?
Nze yampa bugagga
Naye akyagaba
Nyiikira kusaba obudde bwe bulikya
Enjuba eyake
Waliwo lw’olowooza
Nti eyo embeera toligisomoka (toligisomoka)
Nga kibuyaga akutte
Olufu luzibye gy’ogenda
Oyo akulemesa, omukisa gwo
Nga yewaana nkya n’eggulo
K’ebe embaga n’oloowooza terijja
Ku mulimu bakugobye osembye
Naye omukisa ogutazibirwa kkubo
Bwe gujja embeera n’ekyuka
Ababadde baseka, nga bageya
Ne bibakalira ku matama
Ng’omugumba azadde, laba obugagga
Omugole asamba gown, eh
Omukisa gwa Mukama gw’agaba
Tekuba buyinike (tekuba buyinike)
Enzigi nga zaguddwawo
Tewaba aziggala (tewaba aziggala)
Kati on’onyiigira ani?
Nze yampa bugagga
Ate akyagaba
Nyiikira kusaba obudde bwe bulikya
Enjuba eveeyo
Mukama gw’agaba
Tekuba buyinike (tekuba buyinike)
Enzigi nga zaguddwawo
Tewaba aziggala (tewaba aziggala)
Kati on’onenya ani?
Nze yampa bugagga
Naye akyagaba
Nyiikira kusaba obudde bwe bulikya
Enjuba eyake
Everest Production
Hmmm
Producer Andy
Kati gwe aweddemu essuubi (gwe aweddemu essuubi)
Olw’ebyo by’ogoba ebitakutuka (bambi)
Bambi owulira wekyaye (wekyaye)
Weeraba ng’eyalemwa
Kati nkugamba leero
Labira ku nze
Oddemu amaanyi (ddamu amaanyi)
Laba ekitangaala kivuddeyo gyoli (kivuddeyo)
(Gira olabe omukisa gwo)
Haa aah ooh omukisa gwo
(Gira olabe omukisa gwo)
Totya bakuwalana
Tebalibba mukisa gwo
(Gira olabe omukisa gwo)
Buli omu n’ogugwe
Ogwange gwange tekuli buyinike
(Gira olabe omukisa gwo)
Gw’abadde akaaba
Biveeko ebyo genda maaso
(Gira olabe omukisa gwo)
Zuukuka osabe, Mukama ajja
(Gira olabe omukisa gwo)
Linda, linda, linda embaga yo
(Gira olabe omukisa gwo)