Olutabaalo Lyrics – Mamuli Katumba

Omuntu okuyingira ensi eno asooka mulanga
Ate era ne bw’oba ofudde
Banno obasiibuza bigere nti ‘mweraba ŋenze’
Ne basigala mu miranga
Singa twali tumanyi abafu ne tunaabako
Ne tulema okuwunya ng’enkejje
Nga tusambajja olugero luli olugamba
Nnyini mufu yaakwata awawunya
Bw’oloota ekirooto ne kituukirira
Bwe kiba kirungi okeera ojaganya
Naye n’omala okiroota ng’ekyange kye naloose
Bw’otoba musajja okaaba
Kubanga nze naloose ba jajja abaatufaako
Nga bali mu masuuka ameeru
Okwo kw’ossa n’ebikuntu muziyita mbugo
Abaganda baali nnyo bayiiya
Abafu baazinyemu ne basanyuka nnyo
Olaba omufu eyafa edda abiibya!
Nga baagala bambuuzeeko nga neyongerayo
Kubanga nabadde ntidde, oh

Alindokola emmindi ku mumwa aliba walumbe
Y’alindesaawo abaana bange bano
Aliba ani?
Alindokola emmindi ku mumwa aliba walumbe
Y’alindesa amabujje gange
Anhaa!
Alindokola emmindi ku mumwa aliba walumbe
Y’alindesaawo abaana bange bano

Mbadde mugonvu okumala akaseera
Okuva lwe nnava ku kitanda
Nfunyemu olujuju
Kko nze kampite abaana
Ne ba namwandu abaliba
Baana bange muli bangi!
Muli bangi nze mbazaala nze kitammwe
Kati nsaba mbatuuze nga nkyali mulamu
Muliba abajulizi nga nzaaye
Ntabadde Obuganda, Bunyoro ne Busoga
Buli siteegi nagenda nzaala
Kabingo ne Lugaaga, Idingiri ne Ibanda
Yonna nazaalayo era abaana
Mpozzi n’e Kasese, Fort Portal
N’e Kagadi ninayo era omwana
Ow’e Kibaale nnyina yamugaba
Emizimu gy’abakunja minyiivu
Mubende n’e Mityana, Bukuya ne Kassanda
Yonna nazaalayo era abaana
E Busoga nazaala mu Naigaga
E Mbale Nandudu naye era munyiivu
E Busoga nazaala mu Naigaga
E Mbale Nandudu naye era munyiivu
Yaŋŋamba okunsala embalu
Katumba ne mbigaana
Omwana n’amutwala ewaabwe
Baabo mu Kampala, balinga ba nkoko nnyoro
Buli siteegi nagenda nzaala
Bwaise, Kawempe, Maganjo n’e Kagoma
Kajjansi, Ntebe, Abayita Ababiri
Kibuye, Ndeeba, Nateete
Kyengera, Nsangi, Bbunga, Ggaba, Kansanga
Bweyogerere, Kireka ne Bbanda
Seeta, Mukono eri e Kyaggwe, oh

Baana bange mwetegerezanga nnyo abakaaba
Ssi buli akaaba ntino mutuufu!
Kubeera kwoza ku mmunye
Okulaba bye batwala
Abamu bakungubaga bageya
Mwesibanga ebimyu mwenna ne munywera
Kuba ennaku eribeera etuuse
Bwemufunanga ke mulya mukagabanangamu
Okuboolana kitammwe ŋaanye
Osookanga kuyamba muganda wo ddala ddala
N’olyoka ojuna ow’ebweru
Omuntu w’omusaayi gwo luba lugandalwo ddala
Ze ntumbwe za kitammwe Katumba
Osikanga munno omukono waaliba ayiseemu
Munnange tomanya ensi ekyuka
Mwebuuzanga nnyo ku bazeeyi ab’envi
Kuba be bamanyi ennyo obakira
Ffe tukulidde mu bwebolereze okujja mu bantu
Abaffe baatufaako bato nnyo
Nammwe mwennyini mwebuuliriranga
Okusinga lwe mulyekiiya ŋaanye

Baana bange ebigambo bye mbagamba
Mbasaba mubikwate mubiteekere ddala mitima
Obulimba n’obulyake obunnanfuusi n’obukuusa
Mbasaba mubireke ssi bituufu
Mubenga basomi mu nsi n’obuntubulamu
Nga mukulembeza nnyo eddiini
Amagezi amazaale gayamba nnyo
N’olyoka ogattako ate amasome
Okwabya ennyimbe ekintu ekyo kiyamba nnyo
Kwe kumanya empya za ba jajja mwe twava
Okwo kw’ossa n’obulombolombo obuwangwa n’ennono
Ffe twasibuka eri e Kyaggwe
Baana bange obazaala bwentyo
Gyali mirimu gya nsi gino egitutambuza ng’omusana
Ng’obudde we buzibira
Ge gaba amaka gange
Ne mbulwa omukyala afumba
Mu myaka gy’ekivubuka nabanga mu kutawuka
Mu lutalo lw’okunoonya ensimbi
N’olwekyo kye nava nazaala mawanga
Ne mu bitundu naye ssi kikozezza ffujjo
Kale y’ensonga eyo mbasaba mugumenga (mube mirembe)
Nga mwesigama (Mu linnya lya) Kitaffe Omukama
Essaawa bw’eituuka mulibeera ba muwendo
N’okusinga ku nze kitammwe
Ebyo bwemulibikwata ne bwe ndiba nazaawa
Ndibeera mugumu ng’olwazi
Kati nkubiridde awo mbasaba mube mirembe
Mu linnya lya kitaffe Omukama

Submit Corrections