Olunnabe Lw’ekibuga Lyrics – Angel Sekandi

Ndi wa bbeeyi nina ewange
Nina ne bell eyaakaliriza okulaba akonkona
Kino kibeere kya kuyiga gyoli
Kya magezi okuteekawo aw’okussa oluba
Nazimbye na mu kyalo eyo
Nze omanyi olunnabe lw’ekibuga lwannyiwa
Be basiba bu ttooyi
Nga gy’obeera nti ebiterekwayo bibbibwa olumu
Ne bw’olibikkula fayiro ekiyitibwa ekibuga
Okukibeeramu okulungula omutwe
Ssi kintu kyangu bannange
Nga wadde ensimbi ezisangibwayo zitotoogana
Batunda n’empewo abagezi
Munno n’omulaba bwakupyakupya abe ng’abeerawo
Buno obulamu!
Aah ah, hmmm!!!

Nkubiriza bannange abayayaanira ekibuga
Okwegendereza nga kibagwiranya
Kuba enkomerero yaakyo ssi nnungi
Okyayinza okubulwamu akakalu k’olaga
Ebikozesebwamu bya buseere
Sso ng’ate n’atalina abyegomba okufa
Kati awo we wava entaanya
Buli omu n’amagamaga okulaba gw’anyaga
Nze kye ndowooza kiikino
Ekitutaasa okuwona ebintu nga bino kwe kulimangako
Nze kati ndi ku nkumbi
Ssi lwa buteesobola nnima lwa kuba nti tukeera okulya
Ki temufaayo?
Buli omu n’atetenkanya alabe nti waakiri
Afuna akatundu w’atematema abange

Bunafu bwa kika ki obwo ye obutuguza ebirime
Mu mawanga ga bali e bunaayira ?
Ku ttaka lye tulina eddungi
Nga bbo balina kkalajje na ffukirira!
Atasoma mbu y’asamba ennanda
Laba Mehta ye bukya alima obugagga bw’aliko
N’abalimi ba vanilla wano tulina nfaafa
Nga takumanyi gwe mu makungula
Kanje mpakase ngule nnyana
Mmwe mwepanke nze naabajuna okubaguza amata
Nasimbye n’amajaani eyo
Nwanyise obwavu era abagamanyi oganoga mbaagala
Waliwo b’olaba
Ng’ewaabwe baddayo bamaze olwala oba ng’aweddemu
Kitawe n’agoma
Nga ne w’atandikira omujaaja gwaloka lowooza awo

Abantu mweyune ekibuga okukinoonyezaamu ekikumi
Naye nga n’eri mutetenkanya
Bw’obeera n’enfuna esaana
Weereza ensimbi bo bategeke kwe kulima olunwe
Nkuze awaka ndaba ndiizi
Nze onguze akawagu
Ye onnamulira otya bwe bakongola?
Christmas waakalya nkaaga nnamba
Kyokka owammanta bigaali bya kusindika!
N’obatunuulira, ng’akayumba mw’asula
Kalinga kyagi naye alemeddeko
N’olumu n’asula
Nga ffe abalimi atuyita abaabowa gwe ki kye weesize?
Leka mbaviire
Omanyi mmwe abagambako ate gwe munyooma
Angel nsuddeyo

Submit Corrections