Okwagala ebintu ky’ekikolo ky’ebibi ebingi
Sso nga tetwajja nabyo
Ate era nga wano we tubireka
Beera ne by’ofunye nga bibyo by’ebikusaanidde
Keera opakase nga Mukama bw’awa akuwe
Okwagala ebintu ky’ekikolo ky’ebibi ebingi
Sso nga tetwajja nabyo
Ate era nga wano we tubireka
Beera ne by’ofunye nga bibyo by’ebikusaanidde
Keera opakase nga Mukama bw’awa akuwe
Naye okutya Katonda awamu n’obutayaayaana
Ge magoba amangi
Kubanga tetwaleeta kintu mu nsi
Ate era tetuyinza kuggyamu kintu
Bwe tuba n’emmere n’ebyokwambala
Ebyo binaatumalanga
Naye abantu abaggwaamu omwoyo olw’okugaggawala
Batera okugwa mu kukemebwa okwa buli ngeri
Omuli okwerabira Katonda
N’emitego ogy’okwegomba okubi
Okumalamu amagezi
Okwonoona omuntu ne kumunnyika
Mu kubula n’okuzikirira
Kubanga okwagala ebintu
Ky’ekikolo ky’ebibi byonna
Anti ayagala ffeeza, takkutenga ffeeza
Naye gwe omuntu wa Katonda, ddukanga ebyo
Ogobererenga obutuukirivu, n’okutya Katonda
Okwagala ebintu ky’ekikolo ky’ebibi ebingi
Sso nga tetwajja nabyo
Ate era nga wano we tubireka
Beera ne by’ofunye nga bibyo by’ebikusaanidde
Keera opakase nga Mukama bw’awa akuwe
Okwagala ebintu ky’ekikolo ky’ebibi ebingi
Sso nga tetwajja nabyo
Ate era nga wano we tubireka
Beera ne by’ofunye nga bibyo by’ebikusaanidde
Keera opakase nga Mukama bw’awa akuwe
Okwagala ebintu
Y’ensibuko y’okuyaayaana
Omulugube
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Okwagala ebintu
Y’ensibuko y’okulya ebibbe
Ebikweke
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Okwagala ebintu
Y’entunula omuva obuggya
Obubi ennyo
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Okwagala ebintu
Ly’eggwanika omuva obussi
Kya kabi nnyo
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Okwagala ebintu
Kwe kulimba ofune ebingi
Mu bukyamu
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Ye Pawulo
Okwagala ebintu ky’ekikolo ky’ebibi ebingi
Sso nga tetwajja nabyo
Ate era nga wano we tubireka
Beera ne by’ofunye nga bibyo by’ebikusaanidde
Keera opakase nga Mukama bw’awa akuwe
Okwagala ebintu
Kwe kuzaayira mu kwegomba
Omulugube
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Okwagala ebintu
Ly’eggwanika ly’obuteesigibwa
Kya buswavu
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Okwagala ebintu
Y’ensonga egobya abakozi
Lwa bulyake
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Okwagala ebintu
Y’ensibuko y’enguzi eyajja
Mu kizikiza
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Okwagala ebintu
Ly’ebbeetu ly’ababi, ababbi
Abayaaye
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Tusoma nti
Okwagala ebintu ky’ekikolo ky’ebibi ebingi
Sso nga tetwajja nabyo
Ate era nga wano we tubireka
Beera ne by’ofunye nga bibyo by’ebikusaanidde
Keera opakase nga Mukama bw’awa akuwe
Okwagala ebintu
Y’ennono y’obutali butuvu
Obucaafu
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Okwagala ebintu
Y’endwadde y’okufa omululu
Nga teguwona
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Okwagala ebintu
Ky’ekinnyogoza n’abalokole
Kya kabi nnyo
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Okwagala ebintu
Ky’ekikulungutanya abafuzi
Bya kulya ebyo
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Okwagala ebintu
Ly’ebbinu ly’ababunye endwadde
Zi namutta
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Ssebo tusoma
Okwagala ebintu ky’ekikolo ky’ebibi ebingi
Sso nga tetwajja nabyo
Ate era nga wano we tubireka
Beera ne by’ofunye nga bibyo by’ebikusaanidde
Keera opakase nga Mukama bw’awa akuwe
Okwagala ebintu
Ky’ekitukeeyereza emitima
Buli kadde
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Ssebo tusoma
Okwagala ebintu
Ky’ekisubya n’abamu ebyabwe
Okupekuka
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Ssebo tusoma
Okwagala ebintu
Ky’ekiremya n’abamu okufuga
Lwa kulya buli
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Okwagala ebintu
Ky’ekibuza n’abamu eddiini
Kya kabi nnyo
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Okwagala ebintu
Ky’ekiremya n’okutya Mukama
Kikafuuwe
Ebintu by’ensi eno
Bya kikolimo teri gwe bikkusa
Kale tolaba?
Okwagala ebintu ky’ekikolo ky’ebibi ebingi
Sso nga tetwajja nabyo
Ate era nga wano we tubireka
Beera ne by’ofunye nga bibyo by’ebikusaanidde
Keera opakase nga Mukama bw’awa akuwe
Okwagala ebintu ky’ekikolo ky’ebibi ebingi
Sso nga tetwajja nabyo
Ate era nga wano we tubireka
Beera ne by’ofunye nga bibyo by’ebikusaanidde
Keera opakase nga Mukama bw’awa akuwe
Keera opakaseee
Nga Mukama bw’awa akuweee