Okuba Omukazi Lyrics – Jackie Senyonjo

Amazima okuba omukazi
Bakutuma e Gulu ku bigere n’odda
Guba mugugu munene
Okuba omukazi, by’osanga bingi
Ffe tureze ensi eno
Wadde nga bangi tebakiraba (tebakiraba)
Mbeebaza nnyo abakyala
Kuba bangi mufubye
Omulimu munene
Tukolera mu buzibu bungi
Oyo gwe bayita omukazi, oh oh

Okuba omukazi kirimu bingi
Okuba omukazi ogumira bingi
Okuba omukazi wesonyiwa bingi
Oyo gwe bayita omukazi, labayo
Okuba omukazi kirimu bingi
Okuba omukazi ogumira bingi
Okuba omukazi wesonyiwa bingi
Oyo gwe bayita omukazi

Okumanya okuba omukazi kirimu bingi
Ddala kirabe eh
Emyezi omwenda
Ng’amenyeka n’olubuto
Laba ate bw’amuzaala bwe biba
Naatebaka baaba
Gwe ate n’amuyonsa ne mu ttumbi
N’abikka n’omwami
Oyo gwe bayita omukazi
Gw’onyooma bulijjo, oh oh

Okuba omukazi kirimu bingi
Okuba omukazi ogumira bingi
Okuba omukazi wesonyiwa bingi
Oyo gwe bayita omukazi, labayo
Okuba omukazi kirimu bingi
Okuba omukazi ogumira bingi
Okuba omukazi wesonyiwa bingi
Oyo gwe bayita omukazi

Laba bwe bamulekera abaana
N’apatikana nnyabo
Abaana babeewo
Mubalabira mu kibuga eyo nga bayiiya
Buli kimu ne bagezaako
Baleebuuka lw’abaana ba nnyabo
Mubatulugunye mpola
Bangi bafuuka ba taata b’abaana baabwe
Ne bafuuka ba ssenga baabwe
Ne bafuuka ba jajja baabwe
Oyo ye mukazi, eh eh

Okuba omukazi kirimu bingi
Okuba omukazi ogumira bingi
Okuba omukazi wesonyiwa bingi
Oyo gwe bayita omukazi, labayo
Okuba omukazi kirimu bingi
Okuba omukazi ogumira bingi
Okuba omukazi wesonyiwa bingi
Oyo gwe bayita omukazi

Laba ono yafumba mu bwavu
Ng’amazima alina essuubi
Nti osanga lulikya lumu olunaku baaba
Ebitaala ne bibata
Laba ate be yazifuna omwami
Ekirabo yamuteekako muggya we
Ebyo bye tugumira abakazi
Okuba omukazi
Ddala lutalo, eh eh

Okuba omukazi kirimu bingi (ddala bingi)
Okuba omukazi ogumira bingi (bingi, bingi)
Okuba omukazi wesonyiwa bingi
(Abakazi twesonyiwa bingi)
Oyo gwe bayita omukazi, labayo
(Laba abakazi tugumira bingi)
Okuba omukazi kirimu bingi (aah ah)
Okuba omukazi ogumira bingi (bingi, bingi)
Okuba omukazi wesonyiwa bingi (maama)
Oyo gwe bayita omukazi
(Oyo gwe bayita omukazi)

Okuba omukazi kirimu bingi (uuhu)
Okuba omukazi ogumira bingi (bingi, bingi)
Okuba omukazi wesonyiwa bingi
(Abakazi twesonyiwa bingi)
Oyo gwe bayita omukazi, labayo (eeh)
Okuba omukazi kirimu bingi
Okuba omukazi ogumira bingi (ogumira bingi)
Okuba omukazi wesonyiwa bingi
Oyo gwe bayita omukazi
(Oyo gwe bayita omukazi)

Submit Corrections