Ayi Ssaabasajja Kabaka
Mukama wange, gusinze
Ogw’embuga gutta atatuuse

Obwongo olundaga awali ensobi nkwata lutamba
Kye bandagaanya mu nsi
Ne Kabaka okusiima okunnyambaza ebitiibwa
Yava ku bye nkola era
Naye waliwo be kyayisa obubi be siiyatule
Omuntu wa wano kkoyi
Kye baava banzisa mu kkutiya ne basuula eyo
Nebakotoggera ensi
Ndi mabega wa firiigi beene mpunyira eyo
Gye banzisa baganje
Kyova obabuuza mu nju ekiwunya basajja bo abo
Nebawoza mmese nfu
Ssebo mukama wange bakulimba abantu abo
Kamwa koogera nze ncuuma
Bukyanga nsirika ssi bwa jjo
Oba kizigo kyogererweko

Bayina omukisa ab’emyoyo emibi egitabafaanana
Nebwagenda mu lumbe
Bakiteebeza Sewaggete olw’obutamiivu
Nga nnyini kukikola akaga
Nsaba osiime kitaffe owulire ensonga
Bangi abamettebwa enziro
Ate nga b’olaba nga bennyini ddala Abaganda
Be benyigidde mu kkyo!
Bawandula abasajja abamanyi ennono obulungi
Fitina ya wano etekya
Mu byoya by’endiga mwe bamansa ensanke kitange
Banoonya okubba embuzi
Nebasagambisa bawoomese enkolwa ku kawunga
Mbu kawooma okukira enkoko
Weegendereze abakulya mu ngalo
Mu ngalo, abasinga banoonya byabwe

Ssi buli awoza ssebo ssebo wangi mukama wange
Nti abeera mwesigwa nnyo
Mbadde eyalyamu Yesu olukwe naye yajja bwatyo
Namunswa tebaba bbo
Waliwo abawoza bba ffe w’oligwa sirikusuula
Nga beggamyewo lwa nkuba
Ng’olulengera akasana ate awoza leka oti
Omuganda wa wano kkoyi
Bateeseza ebituufu mu nsobi abantu abaffe
Nebaguma tufiirwe!
N’oluusi boogera ebifa e Buganda babikyusa
Bamala geelogozza
Olaba n’amanyi nti eno ewaffe tulya ndaggu
Atussizaamu kaama!
Tufuna okutya nga katemba agenda mu maaso
Mu beekulubeesa e mbuga
Weegendereze abakulya mu ngalo
Mu ngalo, abasinga nnabe namutta!

Abantu bazibu nnyo
Mu nsi eriyo ensimbi beekoza ebitajja
Be tulaba balejja
Abakungiza embajju bagiyita endiga ento
Bakubuzaabuza nnyo
N’okunkolako empiiga bingi bye batidde
Bwe balaba ategeera gwe bayita omulabe
Ggwanga ly’erifiirwa
Kitalo n’abagwira nabo baafunye
Empenda ezifuna obutuuze!
N’amannya nebakyusa n’atuumwa Bbwete
Okudda mu nnono empya
Ebintu byatubodde ebitaaliwo edda
Mwattu bifunye omuwaatwa
Ku bye ndaba bigwawo
Oluusi tulyekanga Katikkiro Muluulu!
Abange kitalo nnyo
Omulembe gwa nsobi Obuganda bubbira

Kale okuva ku bye ndabyeko
Ka mbe ng’alagula ekiseera ekinajja
Buganda ekka mu bunnya
Gye tulaga ndaba ekizikiza ekikutte
Tuliraba agasenga mu nsi ya boobwe
Okufuuka abasenze!
N’abaana be tuzaala okufuuka ebivumo
Abange kitalo nnyo
Nti edda waliwo Omuganda Kijjo
Eyeetundako ettaka lye lyonna
N’asigazaawo mpaawo we kaaga
Ekika we kiziikibwa
Wayita mbale nerubala ate
N’akasigadde baakamusuuza
Olw’ebizibu ebingi ebyamuyinga
Bwatyo n’alemererwa
Yawunga n’adduka emisinde gya mbwa
Yejjuukiriza asenze mu Rwanda
Aba ky’ajje azzukuze abazzukulu
Mukama n’amujjulula
Tubuuza tumanye obutaka bwaffe
Kyokka mpaawo atugamba kantu
Maama ne kitaffe lwabalya dda nebazikirira
Mpozzi wabeewo ekikyuka mu nsi
Ebiriddawo mbiranze by’ebyo
Awangaale nnyo Kabaka ccuucu
Nfundikidde bwentyo mweraba

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *