Ogenda Lyrics – Bobi Wine

Ekindeese bannange abampuliriza
Ntembeddwa bigambo bya Ssebadduka
Eyasomera Amin ebisembayo
Mu myaka gy’ensanvu nga bamuggyako
Nzize kusomera Musaba ne basajja be
Olw’ebyo bye batukoze
Mutulugunyizza ensi ne mukamala
Eggwanga ne mulinyaga
Mwalimbalimba bannammwe be mukulembera
Nga mubasuubiza eddembe eryesalirawo
Ne mubasuubiza okugoba ababba obululu
Ne mubasaba n’abaana ogenda mu nsiko
Ne babawa abaana ogenda mu nsiko
N’abandi ne bafiirayo
Naye watuuka ku bufuzi n’ofutubbala
N’ofuuka muntu mulala
Kiki watuuka ku bufuzi n’olemerako?
Sso nga bye wali ovumirira?
Abaakutuusa ku bufuzi obaziba emimwa
N’abalala obatugumbula
Okulonda mwakufuula kwa kujerega
Akalulu ak’amazima n’okakumpanya
Abavuganya abandi ne mubasiba
N’abalala ng’obatemula
Abamu mubatta kyere ensi yonna n’emanya
Abalala mubatta kyama naye Katonda n’amanya
Alittisa ekitala ky’ekirimulya
Alittisa amasasi ge galimulya
Ne weefuula omufuzi ow’olubeerera
Sso nga bye wali ovimirira

Ogenda
Musajjamukulu olina okugenda
Wadde wanyaga akalulu n’obicangacanga
Ogenda
Nze nkakasa nti olina okugenda
Amaanyi g’abantu galina okutwala
Ogenda
Musajjamukulu olina okugenda
Wafuuka nakyemalira baakukoowa wonna
Ogenda
Emmundu z’ottisa abantu
Nga bwe zaakuleeta bwe ziyinza okutwala
Ogenda

Bwe buba bugagga bwo bwe wajja mu kutuuyana
Oba ku mukyala wo bwe wabaawo akuzoganya
Olwana ne Katonda akuyambako
Kuba okulwana ky’ekiba kiddako
Naye kiki obonyabonya banno bwe muvuganya?
Olw’ensi yaabwe nabo mwe bazaalibwa
Olaba waleeta panda gali eza drone!
Bye walangiranga Obote wabiddamu
Katonda ali omu eyakola eno ensi n’eggulu
Ye Katonda yekka buli muntu gw’asaba
Naye eddiini mwe tumusabira ziri ntoko!
Lwaki eddiini teri emu buli muntu gy’asaba?
Katonda alina amaanyi agasembayo
Ayinza okuzikiriza ensi n’eggulu nga bw’alabye
Teri kimulema wano ku nsi n’eggulu
Naye taforcinga bantu kumusinza lwa mpaka
Yatulekera eddembe twesalirewo
Kye yava aleka sitaani naatamuzisa
Nga ye minzaani ye ye gy’aba akozesa
Okulaba abamutya n’abatamutya
Kye nva mbuuza gwe ssebo atutigomya
Gwe omuntu obuntu eyava mu ttaka obutaka
Katonda gwe yatonda bw’ati n’omukono gwe
Lwaki okaka buli omu okukusinza olw’empaka?

Ogenda
Musajjamukulu olina okugenda
Wadde wanyaga akalulu n’obicangacanga
Ogenda
Nze nkakasa nti olina okugenda
Amaanyi g’abantu galina okutwala
Ogenda
Musajjamukulu olina okugenda
Wafuuka nakyemalira baakukoowa wonna
Ogenda
Emmundu z’ottisa abantu
Nga bwe zaakuleeta bwe ziyinza okutwala
Ogenda

Ebyaggyisa banno ku bufuzi wabimanya
By’ebimu kati naawe by’oliko
Okumalira abantu mu makomera
Nga tebawozezza wabula osiba busibi
Okwegaggawaza ng’oyita mu bukenuzi
N’omululu gw’okufuga ng’onyigiriza
Abakulira amadiini n’obakijjanya
N’abalala ng’obatemula
Katonda munyiivu nnyo olw’obufuzi bwo
Ky’ava akutte ekisa kye n’akikuggyako
Bannamawulire eddembe n’olibaggyako
Facebook mu Uganda n’ogisalako
Ensi n’ogifuula ng’ekyobugagga kyo
N’ogifuula ng’ekiraalo kyo
Obugagga bw’ensi bwonna n’obusalako
Obugabana gwe na famire yo
Nze nali Kigoloobya jjuuzi
Gye basiima amafuta naye nga obwavu bungi
Wabateekako emmundu
Bonna n’obagamba nti ‘mmwe, gano amafuta gange’

Ogenda
Musajjamukulu olina okugenda
Wadde wanyaga akalulu n’obicangacanga
Ogenda
Nze nkakasa nti olina okugenda
Amaanyi g’abantu galina okutwala
Ogenda
Musajjamukulu olina okugenda
Wafuuka nakyemalira baakukoowa wonna
Ogenda
Emmundu z’ottisa abantu
Nga bwe zaakuleeta bwe ziyinza okutwala
Ogenda

Nze nkimanyi nti olina okugenda
Nga bonna bannakyemalira bwe bazze bagenda
Ogenda
Era nkakasa nti olina okugenda
Kati ne by’okola biraga anaatera okugenda
Ogenda
Mwatufuga lwa butamanya
Naye twababuuka kye tuva tutabatya
Ogenda
Weekyusiza abakubudamya
N’amataka g’abantu ne muganyaga
Ogenda
Ne muwamba n’abavubuka
Ne mukwata n’abakazi gye mubasiba
Ogenda
Neebuuza gy’ojja n’otulo?
Laba abaana b’abantu b’otirimbula!
Ogenda
Nze nkakasa nti olina okugenda
Nga bonna bannakyemalira bwe bazze bagenda
Ogenda
Now this goes to P.O Box 1, Entebbe
Enzibe!

Submit Corrections