Kino ssi kyangu kya kubagamba
Nti omuntu nga nze enkya mulina okunziika!
Naye ndulumira agenda okunzita
Ensi tekungulwa aniigiina
Era ngyozayoza abampembe
Abalyevaamu ne babangawo enju yange
Mwendisiisira obujjuvu
Nga mwe namusiza abansooka
Naalisobola okwewaayo natindigga
Muyogeeyoge nsiimye nno
Ne k’oliwaayo munnange nkeebaza
Bonna abalisuza ab’ewange
Ebintu bwebiti mbyogedde
Ebiribuutikira abaligabana obuntuntu
Mukama bw’aliba annyambye ne nfuna
Ng’ebyobugagga mu nsi ye eno
Bwekiriba kityo nnyabo wange
Namwandu kye naalisabye weeyombekere
Sso bwe wataliba akugoba nywerera
Obwanabwo ofube obwolanga

Obulamu bwebutyo
Tetwafuna bwa ddembe
Era gy’emiranga amajja
N’amagenda
Obulamu bwebutyo
Tetwafuna bwa ddembe
Era gy’emiranga amajja
N’amagenda

Buli omu kye manyi akyebuuza
Engeri emmanju gy’erikuumibwa ab’ewaabwe!
Na buli mulamu abimanyi ebya wano
Nti bw’ofa n’ebibyo nga bizaawa
Era tusiibula twewaana
N’omanya nga bw’owulumudde ennyumba ezo
Yiika z’ettaka oluusi n’obute
N’abaana n’olumu abazzukulu
N’abiddamu bwe yewaasiira
Eby’ensega biwoomera abulwa ak’obuntu
Nga n’eyakuŋaanya ebimweyagaza bwebityo
Teyaziikwa mu ddiba lya nte
Nga wadde yalina ebyawoobwa
Nti buli ntaana n’eyomukopi ensonda nnya
Vva ku ba Pharaoh bano abaaluli
Be basibirira ebyawundwa
Bakungubazi baataamuuse
Ow’omululu ne bulangiti agyetikka
Bajula na bino nabyo kubyetiba
By’ebyo ebisangwa mu mpya zaffe

Leero n’otunuulira ebyonziira
Ne gwe wawa siringi n’amera akwegaana
Sso ng’omugaso gw’okuwa mugandawo
Kuyamba awo ng’ozaaye gwe
Ne bw’aba yeevuga ssebo wange
Akaana ne kamwesibako nti okuntwala
Oluva e magombe ye tasiibula
Mwejjuukiriza akuuliise
Ate alikomawo ataamuuse
N’asaba Namwandu bw’alina okudda eka
Era abiwona oluusi aganzibwa
Bo we basobola okwetaasa
Kati alina obutaneetuuka
Okuŋaanyanga ebibyo nga bw’owaawaanya
Oba mmindi gy’onywako senvula
Obwanabwo obuwe bweriire
Eby’emiziziko by’afuluka
Ne bw’obuna balooya n’okappa weerimba
Mpozzi ate bw’oleka abakulu waakiri
Ne beegabanyiza ebyakumenya
Ne bizinensi twakuzikweka
Okuutire kabiite bw’alina okyebeera
Nti k’olyewaga bwe twazimbye e Kyambogo
Ne bakujeeza tonjuliranga

Gwe nno wandiba omwerimbi
N’ogamba nti ewaffe teringa eyo ate
Buno obunyazi bwa mweru obwa luno
Byo ebintu by’abagenzi biwooma
Nze bwe bambuulira saatuula
N’alinawo bw’asugumbiza okwesunda!
N’olaba bwe bakyankalanya ebyalekwa
Ne batasaasira nnyabo wange
N’ekika ojula okyegaana
Ng’olaba kifumbekeddemu ab’amaddu
N’eyali talinnya wuwo kaalaba
Nti oli bubi lwa ttambaala
Sseruganda nkulaba oyenjebuse
Kinaaba kitya nga ssenkaaba akwetisse?
Mu baliwo kati nze munyumungufu
Gwo ogw’obukuza kangwetikke
Ddala kki tokuluusana weekolere
Tunaalaba okubeera n’empisa ensiiwuufu
Ky’ova olaba afunye oluusi baganda be
Abeegobako lwa kwerinda
Mukyala Bwanika neebuuze
Mulekwa banaayegeka wa ennaku yaabwe?
Olangirwa akuzaala wali akyebase
Mu ddiiro n’otamwa eŋŋanda ezo!

N’abagumba ba twesiimya
Ky’ateeka mu ttama akimugunya yeesiisa
Nze munnakyaggwe munnamwe mbyamuse
Omuntu yajjirwa okubbwanga
Baayize luno okwewoomya
Mbu bu kitawe ng’alese buto olumbe luno!
Olusiisira oluvaawo lwe balambula
Ekibanja n’eggana mbewuunya!
N’okuzaala mu bakazi abangi batyo
Y’ensulo y’okwabuluzaamu ebyakumenya
Besungira ddala olunaku lw’olifa
Owadangako obawe nga bukyali
Naye k’osumikirwa mw’abo batyo
Bakulunda oli tebakubuza obwekyuso
Nti ebintu bya kitaffe gwe wabyekomya
Nga ne ke wafuna okeebuuza
Luno olumbe lwagabuludde
Buli alina amabujje ky’alina okwekaaba
Nkukkulumira abakuza okwekomya
Ebintu n’ebula akkokoonya
Obulese tebuneetuuka
Ne we bwandiggye ezibuweerera wangadde
Gula buli kirungi owe entumbwe zo
By’ebyo bakulu nsiibudde

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *