Ababadde bannenya nti kiki oluddewo
Okuyiisa kati ntumbudde
Buli omu n’essowaani ye
Ngabule ebimpeesa amannya
Kansooke nkubagize buli omu
Afiiriddwa omuntu we olumbe luno!
Ate ekyennyamiza kwe kulondangamu abalungi
Musango nabaki guno ye ogutagenda kuggwa
Abange kitalo nnyo ba nnyabo
Okuzaalira empuku buli omu n’alera amabanga
Ky’ova nga tolowooza nnyo n’obiwa omuyinza
Abantu kyatusukka obunene
Nze buli lwe nkiwaanyisa mmatire nsigala nsamadde
Naye yalyoka naakisa buli omu natamanya ssaawa
Abantu bandiyinze obulumi
Watya ng’oli mu bagenda enkya bwotogwe kazoole
Walumbe mutemu nnyo
Bwetutajja otulaza wa?
Obugenyi otulesa bwaki ye botogenda kuzza?

Bangi batufuddeko walumbe n’abazaayiza awo
Munnange w’olaba ng’awampi
Abalala bafa ntalo bameka abaabulako effiire?
Ne ky’akoleredde aganyulwe tabituuka maama
Walumbe n’amulinnya ogugere
N’alyoka amubetenta amulaze gy’agaba ebibanja
Ne ku ludda lw’abayimbi kibi tulina ebiwundu
Walumbe by’atutadde ku mutima
Baaki basomberera abalese byatajja kuyinza?
Yasooka Kimbugwe wano jjo n’amukuba endyanga
Eŋŋoma ne zigwaako olubege
Mu z’ekinnansi Kimbugwe bannange yayimba
N’ojja otunyagako Kawalya eyalina eddoboozi
Mu buntu yaluma nnyo abalabi
Ng’oli akkoza n’ensobi mu kulya n’onyigamu ennyimba
Bannange kitalo nnyo!
Bwetutajja otulaza wa?
Obugenyi otulesa bwaki ye abatagenda kudda?

Ffe b’olesa ensi eno

Twali tukyali kw’oyo ate n’oyiyawo entiisa
Katende n’atufaako mu bulumi
Eri ataamumanya oyo naye bannange yazannya
Omugenzi Peter oyo naye bannange yazaawa
Mutebi yandinuunye ku ssanyu
Yamuwuwuttannya wano jjo n’amulesa ensi eno
Luno lulina plan embi okumanya ndutidde
Lutaaya lwa muwuuta magumba
Mazima ne gwe lumezze wansi lussaako amannyo
Margaret Nampa oyo naye lwamumegga bambi
Star w’abayimbi abakazi
Bangi bawazewazeeko naye ssi nalaba amujjira
Umaru lwamutuggyako mu kufa okujjudde entiisa
Ensisi n’ebugaana ebibuga
Bigambo ne bitandika buli omu n’ayiiya omussi
Nti gundi ye yamusse
Walumbe ssoowaanya
Obugenyi otulesa bwaki ye botogenda kuzza?

Omusajja omuzira ennyo Kasozi lwamumegguza eyo
Abantu n’atukaabya amaziga
Mu byafaayo bye yaleka essuula empya eri ffe
Tuba tukyali kw’ebyo ate n’atukuba omuggo
Guno gwayitiridde obunene
Okufa kwa Basudde nakwo kw’ajja nga kirooto
Ku byamuvangamu eno ensi emaamiddwa ennyiike
Abange kitalo nnyo ba ssebo
Ono asattizza buli omu n’abuna obusonda
Ne Katonda ky’alaze mu musana twassaawo enkwanso
Nti muyimbi munne amukimye!
Twalumba n’endagu tumanye awaasibuse omussi
Sso nga ne ggwe mubuuza naye ateekawo kiyiiye
Nti abo bayimbi banne bennyini
Avuluga ekituufu mu kyo n’abalaga ejjembe
Nti gundi ye yamusse
Ng’ensimbi muziwaayo
Obugenyi otulesa bwaki ye batagenda kuzza?

Oluwalo lw’okufa buli kye manyi alulinze
Omwavu n’omugagga ly’ekkubo
Era ky’ekiraga Lugaba bw’alina obuyinza
Bw’aba yasazeewo olamage tolina kugaana
Tugenda lwa mpaka mu bulumi
Ye olaba n’owekinaana naye akyaluka muyonta
Kijja lwa butanwa bw’ofa n’oleka emiranga
Abange n’obutadda kya nnaku
Basudde yandikomyewo mu bulamu n’awabula ensi eno
Gavugira aliwo munno olukuva ku maaso
Abantu ekibajjira kye boogera
Kutuvumanga amagufa mukomye abalina omuze ogwo
Byonna ebyo bijjawo lwa nfa etetuwa kiseera
Endowooza n’ezifuula ennyimpi
Walumbe twakukola ki mu nsi ajja atuwondera atyo?
Bwetutajja otulaza wa?
Walumbe ssoowaanya
Obugenyi otulesa bwaki ye abatagenda kudda?

Ffe b’olesa ensi eno

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *