Obufumbo bwa Lease Lyrics – Abdu Mulaasi

Yadde ebiggwawo tebyenkanankananga
Naye kati mukkirize nti bwentyo bwendi
Ebiggwawo tebyenkanankananga
Naye kati mukkirize nti bwentyo bwendi
N’ewava ennume tewakula emu
Ndi w’e Buddu gye ndaga ntegeera
Bangi banteebereza kuba ddene nnyo
Ne basimba n’ennusu amumanyi y’ani?
Kati abadde awakana mugambe keeko
Nze akafubuttuka ebigevvu munda, yenze Siimu
Omugave atawanda byokya
Herman yanfaako muganda wange
Mwannyinaze Nabiryo olyangako ku bintu
Olumbe lubbi Basu lwamutwala
Lulina ennooma
Yali muyimbi wa nnyo, naye kati
Olumbe lwamutwala, byo bwebityo
Eby’emirimu gyaffe, gyo ginyuma
Naye abateesi ba mbwa, mumpalane
Abafumbo mwetereeze
Constitution, nina ya bufumbo bwammwe
Mbadde nteesa!

Obufumbo bube bwa lease
Tuleke obatamwa twagalane bbanga
Contract ya love
Kasita eggwaako nga nkuwa ka bye
Bwoba okyayinza
Ng’osigninga nga nkuwasa olundi

Constitution ebeere mu buntu
Tulemwe okutamwa baganzi baffe
Ng’osigninga oba myaka mwenda
N’abaana babeeko ekigero kyabwe
Ebintu bibeere mu buwandiike
Tulemwe okutamwa baganzi baffe
Nga naawe omukazi osalawo mu buntu
Nti ngya kufumbirako mwaka gwokka
Kasita guggwaako musiibulenga
Oddeyo ku luggya weetereeze
Bwe mujja okumanya value yammwe
Bwaba ayagala ddamu muteese
Bwoba omutamiddwa totawaana
Mugambe nyinayo eyasigninze
Omukazi atama gwe mwana wange
Bw’atambula ekkubo abasiiya kyenda
Balaba queen
Gwe ate amumanyi munda olaba fake
Ng’eri bbo bakwana eyanoba ewange
Eyo ewuwo ocacanca bw’ofunayo ekyana
Ng’ate nze yantama dda gwe ate otijja

Obufumbo bube bwa lease
Tuleke obatamwa twagalane bbanga
Contract ya love
Kasita eggwaako nga nkuwa ka bye
Bwoba okyayinza
Ng’osigninga nga nkuwasa olundi

Ebintu by’okuwayira byakoma dda
Abaaluno bafumba beerya ku mpi
Obufumbo bwa luno tebuwangaala
Kiva ku bakazi bbo bangi mu nsi
Bw’oba okyatendereza alina ettutu etto
Ate ow’akabina akagevvu lw’ajja
Olwo n’otunula ebitakkutanga
Ng’ate ono gw’olina ebbuba lirinnya
Olwo ow’akabina akututte mwoyo
Omulanga ekyakamugezza weetereeze
Laba bakukwata ovulubanye enva
Kale mwawukanya jjambiya na mpi
Lwa nsonga mubeera nga mwetamwa dda
Olwo lw’omulaba obubakkobakko
N’obutama obwali bwamuzimba
Ng’omutamiddwa ebibi bizuuka tukole ebbanga
Oba mwaka gwokka bw’olaba akutuka
Kigumiikirizeeko gumale okuggwa
Mugambe ewammwe weewo tajja gaana
Kuba gye baamuzaala anoonye omundi

Obufumbo bube bwa lease
Tuleke obatamwa twagalane bbanga
Contract ya love
Kasita eggwaako nga nkuwa ka bye
Bwoba okyayinza
Ng’osigninga nga nkuwasa olundi

Lease y’obufumbo ya tuyamba
Obuteetamwa baganzi baffe
Nga munno agenda talina ky’atya
Ebbanga liweddeko lye mwalagaana
Mukole kaadi eziyambayamba
Akooye abakwana mulage mangu
Nti ndi ku lease ya myaka mwenda
Ogira onoonyaayo atalina w’agwa
Olwo tujja kukuuma baganzi baffe
Ng’etteeka lisibye alimenya yenna
Nga contract emala kuggwaako
Bwakwecangirako muwaabirenga
Ate atalina tumwawulenga
Abe n’akatonnyeze wano mu kyenyi
Olwo kiyambeko abakwana bonna
Nti ndi ku for sale sirina muntu
Maze ebyange
Omanyi ssirwa mu bintu ndeka okwata
Ebyange bye muyimba mumpa amaanyi
Mbeebaza mulojja era nkyayiiya
Abdu Mulaasi Byansi ndi w’e Buddu
Atammanyi ntegeera yenze Siimu
Ab’Olugave mwenna bye

Submit Corrections