Ooh, eh
Taata nzize
Obulamu bw’ensi bunsukkiriddeko
Nkoze nfubye
Ŋumikkirizza nnyo n’oguba ngubye
Munnange nzize
Nkimanyi gwe atalindekulira
N’abantu mbatya
Simanyi oba ani, gwe neesiga
Oluusi amayengo mangi
Ebisooto bingi
N’ebibuuzo bingi
Taata nzize

Nzize nga bwendi
Bye neebuuza bingi
Ne bye mpulidde bingi
Taata nzize
B’onunudde bangi
B’okoledde bangi
Ne b’ozzeemu bangi
Nange nzize

Taata nga nsabye
Nsabye emyaka n’ebisiibo nfubye
Amaziga ngakaabye
Ne ndowooza oba
Oli wala nnyo
Taata nzize
Mpulira bingi by’okola
Kati nze mbikooye
Gwe tososola nange jangu
Onkyalire nzize
Ebizibu bingi
N’abalabe bangi
Ebibuuzo bingi
Taata nzize yeah

Byonna ngezezzaako
Bwe sijje w’oli mba nadda wa?
Bisuubizo byo kwe nsinzidde
Ne nzija gy’oli
Nze ne bye mpulira ebingi by’okola
Ebinsobedde obimanyi
Ebikemo bingi obiraba nzize
Taata nzize eeeh
Nzizee yeah

Nzize yeah yeah
Nange nzize yiii
Nange nzize eeh
Nange eeeh yiii
Oh Nzize…

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *