Tweyagale (I say)
Tweyagale, tweyagale (haa!)
Wuuyo omwana aloola
Eeeh loola loola

Ababadde bakkaabya
Ky’ekiseera obeetegule (manti)
Manti manti gw’afunye asinga
Muntu wange weebale okujja
Ebisigadde bindekere
Bindekere mbikumalire (tu tu!)

Laba toliddamu tolidda (eeh eh)
Kkaaba (nze mutuufu)
Toliddamu tolidda (eeh eh)
Kkaaba (nze mutuufu)
Njagala nkwate buwere (eeh eh)
Nga mwana (nze mutuufu)
Maama saagala ojule (eeh eh)
Kkaaba (nze mutuufu)

Bino Mukama by’atera agera
Leero akugeredde bweso
Sinakindi mmambya by’asalabiita
Olabika wamwose buliro
Omuntu gwewasanze ku nkya
Omusanganga n’olundi era
Baamunaaza olweza
Olugattemu kayaayaana (yee)
Nkugambye wakedde ne chance y’eno
Ekintu kyebayita omukisa ky’ekyo
Maama bukya ofunaafuna
Eno bbingwa diiru nnene
Saba saba kyonna ky’oyoya ofune
Siri mukopi mbu n’agula ffene
Oba bitanga basala bagisale
Olyemu kibumba ennyama tugigabe

Laba toliddamu tolidda (eeh eh)
Kkaaba (nze mutuufu)
Toliddamu tolidda (eeh eh)
Kkaaba (nze mutuufu)
Njagala nkwate buwere (eeh eh)
Nga mwana (nze mutuufu)
Maama saagala ojule (eeh eh)
Kkaaba (nze mutuufu)

Nze y’ono mu bufunze
Nzikiriza nkweyanjulire
Nze mmanyi okkola njiriba bitya
Ne mu city mmanyikiddwa
Ssente mba nayo
Ne lwezibuze ennyo nfunayo
Bwembeera n’abo nkaluba
So bwemba naawe ŋŋonda bwenvu
Kati kkiriza tuzine (tuzine)
Oba ka Belare tukanywa tukanywe (tukanywe)
Tunaddayo twetonde (eh!)
Effujjo lituyinze (hahaha)
Oyo atatwagala agende
N’ebiwundu anyige
Anywe ssere oba kibwankulata
Sinakindi kajjiribwa ku munyaanya

Toliddamu tolidda (eeh eh)
Kkaaba (nze mutuufu)
Toliddamu tolidda (eeh eh)
Kkaaba (nze mutuufu)
Yenze omwana w’abalungi (eeh eh)
Yenze (nze mutuufu)
Oh stamina stamina (eeh eh )
Yenze (nze mutuufu)

Tudde eka (eh)
Twendereye (eh)
Ab’ennugu (eh)
Leka ebalume (haha)
Tudde eka (eh)
Katweyagale (Banq Records haha)
Ab’ennugu (haha)
Keebalume
Kusseim de ting you do know
Big Talent we know say yeah
Eddy Kenzo ah yeah
Beta
Tweyagale
Tweyagale
Tweyagale
Tweyagale

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin