Hmmm ooh oh
Eeeh

Nwanira (hmmm)
Tobaganya kunsekerera (oh)
Abayigganya emmeeme yange (Mukama)
Baagala kunzikiriza (Mukama)
Nkusaba nwanira (hmmm)
Otegulule emitego gyabwe (ooh)
Nsaba obakwase ensonyi (ooh)
Onyweze ebigere byange

Nkoowoola Mukama
Mu mbeera eno gyempitamu
Laba nkukoowoola, ojje onnyambe
Nzirukira gyoli
Taata simanyi kulwana
Oh laba abalabe
Laba eggye linnumbye
Ndabamu emikwano, taata bwetwasekanga
Kati bipande, abalagirira abalabe abannoonya
Ooh ddala kiki ekikyusa emitima?
Taata simanyi kulwana
Balabe tobaganya kunsekerera
Nwanira nze

Nwanira (nwanira nze Mukama)
Tobaganya kunsekerera (ooh)
Abayigganya emmeeme yange (banjigganya)
Baagala kunzikiriza (baagala kunzikiriza Mukama)
Nkusaba nwanira (nwanira kitange)
Otegulule emitego gyabwe (ooh)
Nsaba obakwase ensonyi (ssebo)
Onyweze ebigere byange

Oh basimye n’ebinnya
Nebateekamu amafumu taata
Baagala ngwe omwo, nsiraane munnange
Basala n’amagezi, bamalewo akatono ke ninawo
Oh nsaba Mukama, obateekeko eriiso
Oh ddala yalaga wa malayika eyakuba Misiri taata
Oh mbuuza yalaga wa, malayika eyakuba Yeriko
Gwe maanyi ga Yakobo
Gwe maanyi ga Dawudi taata
Oh ssebo golokoka
Onnyambe otegulule emitego gyabwe
Nnyamba Mukama

Nwanira (nwanira)
Tobaganya kunsekerera (tobaganya kunsekerera)
Abayigganya emmeeme yange (tobaganya kunsekerera)
Baagala kunzikiriza (nwanira olutalo)
Nkusaba nwanira (nwanira kitange)
Otegulule emitego gyabwe (tegulula)
Nsaba obakwase ensonyi (ooh eeh)
Onyweze ebigere byange

Oooh
Eeeh
Oooh
Nkukoowoola
Uuuh
Hmmm

Abakwesiga Mukama balinga Sayuuni olunywevu
Terunyeenya luli olusozi lulina Katonda ow’amaanyi
Nebweriba nnyanja myufu Mukama aliteekawo ekkubo (aliteekawo ekkubo)
Abange nebweriba ndwadde nkambwe Mukama alituwonya bannange (alituwonya bannange)
Ooh kati abalabe bange kabajje, nze kangwe mu mikono gya Mukama
Taata, taata tobaganya kunsekerera obakwase ensonyi

Tobaganya kunsekerera obakwase ensonyi
(Tobaganya kunsekerera bakwase ensonyi)
Kati golokoka oyambale amaanyi obakwase ensonyi
(Tobaganya kunsekerera bakwase ensonyi)
Oh kwata engabo tabaala olutalo luntuuse
(Tobaganya kunsekerera bakwase ensonyi)
Oh tobaganya kunsekerera ssebo eyampita
(Tobaganya kunsekerera bakwase ensonyi)
Oh Mukama tobaganya, tobaganya
Tobaganya, tobaganya kunsekerera
(Tobaganya kunsekerera bakwase ensonyi)
Tobaganya kunsekerera Mukama
(Tobaganya kunsekerera bakwase ensonyi)

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin