Da Agent
Ewaffe gye nava
Ettooke twalya nga dduma
Ng’akawunga tekuba nva
Nakula nina eggume
Nga ngiikiriza nkutaagula nkutulugunya
Nga bw’onnemerako nkwambula (iyiii!)
Nga nze asinga okwagala okulya
Nze asinga osaba sigaba naye ate
Bw’onnyima omukenkufu nkutabukira (otya)
Nga lwaki wannyimye ye  lwaki wanvumye?
Bwe twalwanye erinnyo walinsiimbye
Lwaki wannumye?

Ehhhh
Mbabuuza ani aliko mama?
Ehhhh
Mbabuuza ani aliko papa?
Ggume
Kuba ndi wa ggume
Agent wa ggume
Nkulukuta na ggume gwe

Producer wansi ku ttaka
Mbakulukusa mbaserengesa
Mbakalabula mbaleka bukunya
Abagoberela muŋende mpola
Mpale miguwa nkoloboka n’olowooza ndi kikompola
Mbasomesa abakadde n’abato
Ne bawoza omukenkufu azze
Mbuuza lwaki weesika?
Bwe nkulukuta ne mbwatuka
Mbaleka bakubagana emimwa
Bagamba agent wuuyo adduka
Afubuttuka akafubuttuko
Buli waayita amasowaani gaatika
Atolontoka lugaflow omukenku omukenkufu wuuyo aluka
Ntandika osoosotola
Ntambula sikattira nkalambira
Ekikulu oluganda na lusomera mu bwengula
Lugaflow nkulembera
Ye gwe agoba ki tondeka
Da A to the G to the E N T
Mmmh

Nturika nkuluku ntolontoke nkuwe ekigambo?
Nturika nkuluku mpaga mpola ommeza amabango
Nturika nkuluku bwe bimeketa afokota atokota misana tukutuku*
F….. bagugumuka mbu Agent otukanga*
Nturika nkuluku ntolontoke nkuwe ekigambo?
Nturika nkuluku mpaga mpola ommeza amabango
Nturika nkuluku bwe mbimeketa bwe mbisabuka bwe biturika
Bwe balasana Agent ng’oyiwa agagambo
Taata

We nali omuto nakuleka olaamiriza obagamba olina okuzaala omukenkufu alina omutima gw’enkula
Maama
Nandisuze nsuutasuuta nkwebaza buli kyogero kye mwanaaza
Bagamba mutabani wo obwongo bwesera
Ssenga
Singa sajja mwandirumiddwa mwandisalibbwa
Mwandigambye ku nsi temuli makungula
Jajja
Oh sorry kojja
Tojja
Mbadde sikwerabidde okuseembya kabadde kakodyo tonsojja
Lugaflow nkulungula
Level ndala kati nsengula
Bwe mba nduka lugaflow sipapa nkuleka ne wewulungula
Sikaddiwa sibambira tobuuza lwaki seddira
Gwe bw’ompulira oneguya
Naye ate bw’ondaba ongeya
Ka Agent eddoboozi lyako liviira ddala ku planet Pandora
Kakulukuta tekeveera
Naye bw’okalaba okalangira
Nseko buseko slip eteriiko bwe kakalubakaluba*
Kwata bukwasi omukono oguteeke mu kooti wefuule akatidde
Kaviire

A, Agali awamu mmala galaawa
B, Ba fake rapper mbasomesa kutubba
C, Nkyamukira ddala nga The clincher
D, Da agent omukenkufu ndi wa dda
E, Embuzi emmese nabyo bintidde
F, Ffa ku bibyo nze nazimba goloofa
G, Gaagali gatidde bwe mbisengeka alphabetic order gye nzizizza mu luganda ne mbikyuusa
Ntabulatabula kivuguto
Luga kizimbe ye nze nkokoto
Kisereka buseresi waggulu mabaati wansi n’ekikulukuto
Megula megula megulako ka luga kalungi nkutoolerako
Nkutabukira butabukizi kuba wamponya ng’omulwadde w’ekikutuko
Waiter
Mpa ku kamere nkyanyumirwa
Babe
Call me later nkyakulukuta
Horrormatic thriller vva mu bikunta
Agent ge manya nze
Mmh

Ehhhh
Mbabuuza ani aliko mama?
Ehhhh
Mbabuuza ani aliko papa?
Ggume
Agent wa ggume
Genda eka obagambe oli agent akulukuta
Tokoppa!

Submit Corrections

2 thoughts on “Nturika Lyrics – Da Agent”

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *