Princess Zarwa

Ebyo ebintu by’okola
Mukwano lwaki ye onkuba ddolera?
Ng’ate omukwano gwanoga (aaah)
Ate na bino bye neekoza
Bambi togiyita nsobi
Mba njagala kunneeguya (kunneeguya)
Tebakulya dollar siggala ddinisa
Okutuusa lwonadda tebakulya ebinusu
Ssiva mu nkala yo (siva mu nkala yo)
Okuleka ng’okomyewo

Yadde omuntu akwagala alinda
Naye baby onninza nnyo
Lwaki olemeddeyo e Ntinda? (e Ntinda)
Yadde omuntu akwagala alinda nnyo
Naye baby onninza nnyo
Lwaki olemeddeyo e Ntinda? (e Ntinda)

Bw’oba ng’oliimisa
Nange gyendi nteegebwa nkutidde
Bw’oba ng’ondingisa (aaah aah)
Obusonga bubeera butonotono obutuyombya
Kulya kamere katono
Yadde nga ndi mukazi mutono siri mukodo
Sigaba love ntono
Nga nkutte omuliro
Yeggwe amanyi okunzikiza
Ky’ova olaba neemoola
Yeggwe amanyi ekiri munda

Yadde omuntu akwagala alinda
Naye baby onninza nnyo
Lwaki olemeddeyo e Ntinda? (e Ntinda)
Yadde omuntu akwagala alinda nnyo
Naye baby onninza nnyo
Lwaki olemeddeyo e Ntinda? (e Ntinda)

Ku luno nakamudde katunda
Ate nga bw’oba busy olwayo
N’omutima ogutaddeko ejjinja (ogutaddeko ejjinja)
Ebyo ebintu by’okola
Mukwano lwaki ye onkuba ddolera?
Ng’ate omukwano gwanoga
Nga nkutte omuliro (nkutte omuliro)
Yeggwe amanyi okunzikiza (oooh)
Ky’ova olaba neemoola (neemoola)
Yeggwe amanyi ekiri munda
Tebakulya dollar siggala ddinisa (siggala ddinisa)
Okutuusa lwonadda tebakulya ebinusu
Ssiva mu nkala yo (siva mu nkala yo)
Okuleka ng’okomyewo

Yadde omuntu akwagala alinda (akwagala alinda)
Naye baby onninza nnyo
Lwaki olemeddeyo e Ntinda? (eeh, e Ntinda)
Yadde omuntu akwagala alinda nnyo
Naye baby onninza nnyo
Lwaki olemeddeyo e Ntinda? (eeh, e Ntinda)

Nakamudde katunda
Ogutaddeko ejjinja ooh oh

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *