Nteeseza Mukama Lyrics – Joseph Ngoma

Ani anteeseza obulungi nga Mukama?
Ani amanyi bwe neetaaga, nga Yesu?
Laba nze n’omubiri gwange n’amagezi
Bye tuyaayaanira bingi naye ate bituzikiriza
Waliwo bye nfuba okufuna nsanyuse omutima
Naye era ne maliriza ssebo nga nina amaziga
Ne neemulugunya mu bulumi eri mutima
Kuba essanyu lye nteeseza obulamu
Nzigyamu nnaku
Waliwo bye mmala gatomera
Lwakuba bimasaamasa
Naye nga biva wa sitaani kale
Ne nfuna obuzibu
Naye kati nkomyewo gyoli
Gw’amanyi ebyange
Gw’amanyi obulamu bwange
Gw’amanyi byonna bye neetaaga

Nteeseza Mukama
Gw’alina ebiteeso ebinsanyusa
Nteeseza Mukama
Gw’alina ebiteeso ebinkolera
Obeera eyo n’oteeseza abalwadde
Okuba abalamu
Obeera eyo n’oteseza abaavu
Bafune essente
Nteeseza Mukama
Gw’alina ebiteeso ebinnyimusa
Nteeseza Mukama
Gw’alina ebiteeso ebintaasa
Obeera eyo n’oteeseza abanyoomwa
Era obayimusa
Obeera eyo n’oteeseza abasibe
Era obafulumya ekkomera

Oluusi neetunuulira nnyo Mukama
Ne mbala ebiseera bye mmaze
Ne mbala emyaka egisigaddeyo egyange
Nga ndaba obudde bumpitako
Olwo ne neefubirako okufuna
Buli kirungi kye netaaga
Ne mmaliriza nga ssibifunye
Olw’ebiseera ebitannaba
Ndulunkana nnyo bwe ndaba
Emikwano nga balina
Abo b’osanyusizza Mukama
Ne nfuna okusaalirwa
Olwo ne mba n’ebibuuzo nkumu
Muli mu nze
Nga bigamba lwaki nze Mukama?
Ebyange byo biriwa?
Olumu ne nzija gyoli
Nga nina ebizibu byange
Naye ate gwe n’olwawo okukola
Amaanyi ne ganzigwamu
Laba bwe neerabira mu nze
Bwe wagamba abo abakulindako
Nti balitumbiira mu bbanga
N’amaanyi galibaddamu
Naye oba wateeseza Daniel
Okuwona empologoma
Nange mmanyi Mukama
Olina okuteesa kwe noonya (nteeseza)

Nteeseza Mukama
Gw’alina ebiteeso ebinsanyusa
(Mazima gw’omanyi okuteesa)
Nteeseza Mukama
Gw’alina ebiteeso ebinkolera
(Olina omukwano dear)
Obeera eyo n’oteeseza abalwadde
Okuba abalamu
(Ng’aba siriimu bawona eno)
Obeera eyo n’oteseza abaavu
Bafune essente
(Abanaku n’obawa essanyu)
Nteeseza Mukama
Gw’alina ebiteeso ebinnyimusa
(Y’ayimusa abanyoomebwa abo)
Nteeseza Mukama
Gw’alina ebiteeso ebintaasa
(Ataasa oba olina entalo)
Obeera eyo n’oteeseza abanyoomwa
Era obayimusa
(N’obafuula ab’omuwendo)
Obeera eyo n’oteeseza abasibe
Era obafulumya ekkomera
(Gy’olina entalo)
Obeera eyo n’oteeseza abanyoomwa
Era obayimusa
(N’obafuula ab’omuwendo)
Obeera eyo n’oteeseza abasibe
Era obafulumya ekkomera
(Tolemererwa)

Submit Corrections