Nswanjere Lyrics – Vincent Ssegawa

Abaagalwa nakedde nzije mbayimbire
Kuba nakyeyama okuva lwe nabasiibula
Siyinza kugayaala ng’ate nakyeyama
Gattako obulabufu ekyo kyava gye nazaalibwa
Ewaffe eyo buli asomoka Lwera mwawufu
Wasaayo kko ng’oyagala anaakufumbira
Babeera n’empisa obuwulize ng’ate balungi
Banyiikivu okukola tobazannyisa
Bayita n’emikisa gy’ennusu okumuwasa
Oba ng’aleese empenduzo ya shillings
Kati atannawasa e Busega w’okanyoolera
Kwata ku kkono ojje onoonye akufumbira
Ba ssenga baafuba ku by’obuwangwa n’ennono
Bo abaana baawufu njogera kye nali ndabye
Nga nange bye nkola amagezi gaava waffe Buddu
Ky’ova olaba mbikola ng’omutendeke
Kirungi amakungula okuyiiya w’ogateegera
Nze mu guitar ngalindiridde
Ntandikidde waawano
Abaagala ebiwedde akayimba kaakano nkayise nswanjere
Bw’oba wasaayira enswa yo omubbi n’omukwata
Aba agwana ki ddala awone ekimululunkanya?
Kambuulize ddala omubbi atubbira ebiswa
Ogwana ki ssebo owone ekikululunkanya?
Kuba akafaananyi nga bakusanze weekegya
Ku nswa etali yiyo bwe bakunyoola n’okala
Enswa enjere okukussa n’entaayi tesala
Kale obulamu bw’ensi bwotyo n’obusiibula
Abantu bazibu nnyo ku biswa nkubuulire
Bwoba obulamu obwagala nno tolulunkana

Enswa enjere gite
Osaayire eyiyo
Okutali afuŋŋana
Kuba enjere eriko nnyiniyo
Nswanjere gite
Saayira yiyo
Etakkubye luga
Kuba enjere eriko nnyiniyo

Bw’oba osisinkanye ekiswa kyonna ekisaayire
Waalibadde ofuna omutima ogw’okukyeresa
Kimanyiddwa omuntu okwekwata enswa nti yiye
Asimako envubo enswa nebwatagisaayira
Oyo aba mujoozi ajja n’agisaayira yenna
N’abikka enswa ate nga yagisangako envubo
Kyewuunyisa ddala obikka otya enswa yange!
Ndwadde ya jjoogo era oba ogwana okuvumula
Tulabye abakola safari ezaffe nno enswa
Babikka kyere n’amagulu ne balannamya
Mutima ninamu ekintu ekiŋamba nti enswa yange
Bagibikkira ddala lwe mba mu bidongo bye nkuba
Nga kati n’eddakiika eno oluusi babojja
Maama, enswa yange
N’owulira obulumi nga buli wansi mu mwoyo
Kale eky’okukola okinoonya n’olemererwa
Oba tunoonye kkufulu zino enjeru Solex
Tuteereko ddala ennene zebataasumbuwe
Kyalituyambye ng’envubo oleka ogigadde
Nga w’oddira wonna otandikira we mwakoma
Ng’ogiggula n’ogiggala yeggwe abimanyidde
Omubbi bw’ajja n’abulwa envubo
Ekyo kyalibadde waakiri nebwotadda nkya
Bw’olekako ekkufulu waakiri oguma
Nga n’ekisumuluzo ofuba nakyo okyekuuma
Ng’otambula okikutte mu ngalo
Bw’onoonya ekibeemazaamu bagabe enswa zaffe
Tekiriiwo nti kiikyo kyaddala
Kati mwe engeri gye nategedde enkola yammwe
Nti ekigambo nedda kibookya emimwa okukyatula
Kino nina kigambira ddala ababba enswa
Nti mwalibadde mwenenya ne mutusaasira
Ekyo ekiswa okisaayira bakyegombe
Ziba ssente nnyingi z’oba weerekereza
Gwe bw’oba obiyita ebyangu ebiswa bingi nnyo
Naawe genda weefunire ojje okisaayire
Ezo empale bwotolizikuba ebiraka gwe
Ogira okyazannya olowooza byangu bwebityo
N’eyiyo ekulemye okusaayira ogizzaawo
Yonna ezise eri mu nsiko oduma n’ensaayire
Ndikola omuntu ekintu gwendikwatira ku nswa
Ndi mutono naye ndigejja n’ontunuulira
Ate n’abakazi ababbi b’enswa mwegendereze
N’omukazi ayagala enswa ye ebe yiye ddala
Bayonja enswa mmwe nga ba malaaya mutudde
Ne musanga ebyaggwa edda ba malaaya ba kuno
Balikkola ekibi ekikulembedde mu byonna
Ng’oyagala obulamu n’eddembe ojje obiwummule

Enswa enjere gite
Osaayire eyiyo
Okutali afuŋŋana
Kuba enjere eriko nnyiniyo
Nswanjere gite
Saayira yiyo
Etakkubye luga
Kuba enjere eriko nnyiniyo

Bujoozi nabaki abikka enswa etali yiyo?
Oba ng’anyoomye ekika obunafu laazima
Bajooga nnyo enswa yo n’ogisaayira yonna
Ne bajja nga bazunza emimuli egitaawera
Ogwo omumuli gw’ogenda owuubira
Ku za banno ssi basanyufu
Lumu olibba ensejjere anti ziizo zibuuka
Ng’olaba ekikinazza akabina n’osamaalira
Yadde olabye zituntumuka taata tobojja
Bwezibuukirayo enswa ezo n’osalirwa ludda wa?
Aba mutuufu bw’akkola ekigyawo mu bwongo
Enswa enjere nze kye nva naziviirako ddala
Eyeesiga embiro nze simanyi nti ziyamba
Addukira mbajja Makanga baamuyoola
Gwe wewaane bw’oli kafulu okubba enswa
Naye enkomerero olibuuka n’ebinuubule
Balyerolera abalibeera batali wala
Bwotoligenda bukunya olitwala buwerowero
Omwo amagoba ge ndabamu ga kukuziika
Mpozzi akafa omukkuto nga lwe lukweyibaaza
Kati gwe tozuukireko ffe tuzaayire ddala
Bwe baba abafa omukkuto
Nga be bazuukira
Byonna ebirungi by’okubba enswa obyeggweere
Tubikulekedde taata
Bwe balireeta n’ebirabo eby’okubba enswa
Ng’ebyo nabyo obitwala
Mu birabo bye nkugamba temuli kukubwako
Bwe balikukuba emiggo kuliba kukwebaza
Bayinza n’okuwa eddabo erisinga mu byonna
Ng’era kukwebaza ne bakusaawako omutwe
Kale tukkaanye olwali tumale okuluvaako
Enswa enjere nkugamba nti ziviireko ddala
Naawe Nakate banno balekeeko bagejje
Kulwaki gwe omu gwe basongamu ennwe n’emimwe
Kati mbu bonna beenyiye omaze enswa zaabwe
Banoonya amagezi kiki ekinaakuvumula
Nze bwe ntunula kyo ekituufu kya kubivaako
Munnange weewale okuba Nakate wa kuno
Weewummulire osaasire ku banno otuule
Byonna obiwummule owone ebinaakuwondera

Kijja omanyi n’embuulire ngero nnungi nnyo
Nantabuulirwa n’olwa Nampulirazzibi
Gwe kwata bye nkugamba tebivaamu mu bwongo
Bikuyambe wonna mu bulamu bw’akakyo kano
Bw’osanga enswa ensaayire giveeko
Olwo oludduddu ndaba lwa kukussa
Bwotatya musajja munno ng’ofudde
Nali muziiseeko enswa nga ye yamussa
Okozesa ekirala naye vva ku mukyala
Obwedda gwe ndiko nalese mwerowooze
Twazika emmotoka n’okuwola ssente
Naye omusanga wa alikwazika omukyala?
Ye ng’otandika otya n’okola ekiteeso?
Mbu owuwo nga bw’anobye nkuweereze ku wange? (nze?)
Oba okatyabye, ate nga ka busiisi
Kw’olwo lw’omanya nga bwe ssinywa muteefu
Ndi mwangu naye omuntu wange mumanyiire
Nkologe akajenjegule akazinya atanywedde
Nali mmanyi okulwana gw’olaba obuteefu
Naye ntwalirizza nga sifuna busungu
Ekiwumbya engalabi abamanyi Oluganda
Mwenge kubula ate nga ky’ekituufu
Nange engeri gye ndudde okuba ku blow ha!
Ndowooza n’eŋuumi erabika yawumba
Ŋuumi yange wamma wummula ogume
Onaatera okkuba kuba ssiri ku bammanyiira
Akaami akatono okanyoomera mitala eri
Naye okumpi wano okanyoomanyooma n’olaba
Omanyi okubuulira omugezi kya njawulo nnyo
Ate okubuulira omusiru okoowa n’emimwa
Ako akatono ke njogedde bangi bakutte
Atategedde ansonyiwe nsaasidde musaasire
Mukole nga bwe njogedde mundage nti mukutte
Nange lwe nzira ndulinze bumalirivu
Ngya kudda mangu bannange ng’era bulijjo
Ebiwooma biggwa byokya ŋenze Kaliisizo

Enswa enjere gite
Osaayire eyiyo
Okutali afuŋŋana
Kuba enjere eriko nnyiniyo
Nswanjere gite
Saayira yiyo
Etakkubye luga
Kuba enjere eriko nnyiniyo

Submit Corrections