Nsunasuna Lyrics – Ziza Bafana

Wizard Order
Ziza Bafana Musical
Exo Production yo
Uganda we doing dis
Action Packed
Article, we boom

Maama, onkubye akavvulu
Emikono ngiwanise
Nsiimye nnyo obuyimba bw’okuba
Ŋŋamba endongo gy’okuba
Erimu ebirungo bingi wulira bw’evuga
Zi guitar zo z’okuba
N’ezo ennanga z’osuna
N’egyo emirere bw’ogifuuwa

Nazaala Lyrics – Ziza Bafana

Nsunasuna nsunasuna
Ng’asuna endongo
Bw’emba naawe bwe nvuga bwe nvuga
Oba ng’asuna entongooli
Aah nsunasuna nsunasuna
Ng’asuna endongo
Bw’emba naawe bwe nvuga bwe nvuga
Oba ng’asuna entongooli

Vva ku bakusumbuwa
Gwe manya kimu nnyabo
Wafuna dda omwagalwa
Ŋŋamba nkutimba bivvuluvvulu
Nnyabo okukulaba vva ku bakuzannyisa
Eno endongo nze gye nkubye
Ngikubidde wa Exo esobole okusanyusa era
Yeggwe owange gwe ntunuulira
Gwe ndabako omutima ne nzikakkana
Kati kyuka ndabe embooko
Kandabe omwana wa we yakyama-ma
Kati wamma nyeenyeza enkoggo
Nyeenyeza ekiwato kuba tewakyama maama

Police stops Kyarenga Concert in Gulu

Nze kale onsanyusa nnyo nnyo
Aah nnyo nnyo
Munda muli nnyo nnyo nnyo
Ne mu mubiri
Kati onjogeza lwa guitar
Ombalabala onzigyemu n’ebigambo sirikuta
Yeggwe owange ekyatika
Nkukwata mpolampola nkutwala mwattu nga nsaka
Baby wansimaasima
Babe wansimoggola ninga lwatika mu ttaka
Yeggwe mwattu kwe nkomya amaaso
Nkutwala nga mumbejja sirikusaaba na ttaka
Ayaa yeah yeah

Batutunze Lyrics – Ziza Bafana

Kati kanyimbire mu bass
Nga gwe mwana wattu bw’oyimba ne mu stereo
Aah tukole akayimba ko
Tukakubire ewa Exo
Tukasse ne ku radio
Ŋŋamba tukube kali aka laavu
Nga tuyimba ba kabi nga Weasel ne ka Radio
Mu by’omukwano kankutijjise (nkutijjise)
Kankutambuze obuyimba kankuyimbire (nkuyimbire)
Ow’omukwano gwange twetale (twetale)
Nkwambaze empeta nayo nkunaanike (nkunaanike era)
Kaakano nze kankube eŋŋoma (nkube eŋŋoma)
Gwe ozine amazina babe ogatyebule (teera amateera teera)

Wamma nze laavu emezze
Nze mukwano ntudde
Kano akayimba kange eeh
Wamma no y’ono reggae mwattu anyuma aah aah
Exo
A Bi-Bafana Magical
Straight-a pulloo

Submit Corrrections