Ndi mu maasogo Mukama
Nzize kwebaza ssebo
Entalo z’onwanidde
Ne gy’onzije ssebo nsiimye
Level kw’ontuusizza
Abantu bangi bagyewuunya
Naye kati nsaba onyimuse
Onteeke ate kw’esinga kw’eno
Wano wendi nduddewo nnyo
Ebisinga biri mitala eri
Nsaba onyimuse ontuuse
Abalala gye baloota obuloosi
Okutuuka wano lwali lutalo
Kati eno egenda kuba ssematalo
Kuba buli level bwe yeyongera
Nga n’ebilwanyisa bye yongera
Katonda ow’amaanyi
Ow’ekitiibwa
Nsaba mu lugendo lwange luno
(Nsaba kimu nsookaayo)
Buli ekinnumba
Buli ekinteega
Bwekinaakulaba nga kidduka
(Nsaba kimu nsookaayo)
Nsaba kimu nsooka
Nnyamba
Nsookaayo
(Nsaba kimu nsookaayo)
Ggwe ssuubi lyange
Eyo gye ŋŋenda
Ba bbendera yange
Mukama yamba
Nga mpita mu biwonko
Nga mpita mu bisaalu
Mu maggwa amangi
Mponya obulumi bwonna
Ekiro mu matumbi
Mu nzikiza ennyingi
Luŋŋamya ebigere byange
Mulisiza onkuume
Oh oh oh eh
Ah ah eh
Hmmmm
Luno olugendo lulemye abantu bangi
Abalina amaanyi osinga nze
Balwanye ne bakola buli kyonna
Naye ate ne bigaana
Kati baseka nze bwe ŋŋambye
Nti ŋŋenda kola bye baalemwa
Era amagezi ge bampadde
Mbu mbite sekooya
Batuufu sirina maanyi
Ndi kanafu nnyo nga bbo bwe balaba
Naye Mukama ng’oli nange
Kazibe nsozi zivunnama
Nsooka
Nnyamba
Yonna
Gye ndaga
There are some points that I don’t understand in this article, can they be clarified for other articles?
The lyrics and the song are very good,the song is very touching and awesome,i love it