Nsonyiwa Lyrics – Iryn Namubiru

Yeaah
Aaah
Aaah

Mukwano
Nsonyiwa amazima bw’oba ng’onjagala, nsonyiwa!
Kkiriza, nkwetondere laba neemenye tosiba busungu
Jjukira, nti naawe onsobya n’oneetondera
Era nange ne nkusonyiwa manya
Nti nange ndi muntu we nnemererwa, mpaniririra
Lowooza, ku bingi ebigezo mwe tuyise eeh eh
Kimpisa bubi mukwano
Bw’onyiiga otyo

Nsonyiwa aah ensobi zibaawo
Nsonyiwa mukwano neetonze
Nziriraamu darling
Omutima gwo bambi togukweka
Kuba gwe wange
Nsonyiwa mukwano
Labayo neemenye

Akaseko ko
Akalungi mazima ssikyakalabako nga ndabye
Obusungu, laba kye bukola
Bwe bwonoona emikwano
Kuba naffe, mu kaseera akatono
Laba we tutuuse!
Otunudde eri nange ntunudde eno
(Otunudde eri nange ntunudde eno)
Kati laavu eriwa?
Nsaasira laba bwe nnyolwa
(Laba bwe nnyolwa, ooh)
Mpulira bubi mukwano ooh
Nkwetaaga

Nsonyiwa aah ensobi zibaawo
Nsonyiwa mukwano neetonze
Nziriraamu darling
Omutima gwo bambi togukweka
Kuba gwe wange
Nsonyiwa mukwano
Labayo neemenye
Nsonyiwa aah ensobi zibaawo
Nsonyiwa mukwano neetonze
Nziriraamu darling
Omutima gwo bambi togukweka
Kuba gwe wange
Nsonyiwa mukwano (aah)
Laba neemenye

Kkiriza, neetonde
Bw’onyiiga notosonyiwa kiba kibi
Mukwano laba, nze ŋonze
Nsonyiwa
Kkiriza onziriremu
Tudde nga bwe tubadde mukwano omungi
Eeh, gwe wange
Yamba nze
Bambi, nsonyiwa!

(Nsonyiwa aaah ah)
Nsonyiwa aah ensobi zibaawo (zibaawo mukwano)
Nsonyiwa mukwano neetonze (ooh)
Nziriraamu darling (nziriraamu darling)
Omutima gwo bambi togukweka
Kuba gwe wange
Nsonyiwa mukwano
Labayo neemenye (kye nsaba)
(Nsonyiwa aaah ah)
Nsonyiwa aah ensobi zibaawo (zibaawo zibaawo)
Nsonyiwa mukwano neetonze
Nziriraamu darling (nziriraamu darling)
Omutima gwo bambi togukweka (togukweka)
Kuba gwe wange (uuh uh)
Nsonyiwa mukwano (labayo, labayo)
Labayo neemenye (neemenye)

Eeh, nsonyiwa
Ah ah mukwano
Eeh, nsonyiwa
Nsonyiwa, nsonyiwa
Eeh, nsonyiwa
Uuh uh
Eeh, nsonyiwa
Nfudde, nsonyiwa!

Submit Corrections