Nsondannya Lyrics – Paul Kafeero

Ddala olunaku luggya kukya
Ontwale e nsondannya
Ebintu byange bye ntegese
Obindese bajje banyage
Ddala olunaku luggya kukya
Ontwale e nsondannya
Ebintu byange bye ntegese
Obindese bajje banyage

Obwo obwana bwange bwe nzadde
Busigale ttayo ziraga
Bakadde bange be nafissaawo
Mu bimyu nga baazirana
Oh munneerabire gye ndiraga
Musigale ogereesanga
Nti oyo ye munaffe eyali asanyusa
Mu maloboozi ge ndireka
Nga mundabanga ku ntambi
Musongere ku baliddirira
Nti oyo mu baaliwo ye yajja bubwe
Kuba sigenda kuzuulwa mu balala
Nende gye ndiwummulira
Obwa nnamunigina mbeere
Obwa ppeke ddala nsigale
Bannange olugendo lw’obwomu!

Akayumba ako mulyango gumu
Ne bwe balikawunda batya
Teri akayingira asanyuse
Ng’emba bazinywezezza
Nkaddiŋŋana buli lwe nkomawo
Biwoobe by’ebikaggulawo
Ewali ennaku etusingirira
Na buli akayimbako akalojja bubwe
Akadde ako ttiitiwaza
Akaseera ak’okujonjobala
Akateewalwa k’obeere ani
Fenna okutulindiriranga
Oba omwesiga ngeri ki!
Oyo omumbowa atusomboola
Walumbe ttanyanga mabwa
Mu biwundu mw’otumyumyula
Amafuvu musono nabaki?
Abaana bange g’obambazza?
Naye bbulu ki ky’onnoonyaako?
Okungaayuuliranga embwa
Awatajjula yo waaba watya?
Ku b’ebitiibwa b’otirimbudde!
Ne bu nampawengwa n’omugunya
Ttama ki eryo mw’obatika!
Oh ne bajjanga ne bandoosa
Ab’emikwano bwe twali tuteesa
Naye ddala nga bambulako
Twabaziika ne mbafuma
Pair pair otuseenya buku
Balongo ne Ntale yakukumba lumu
Ne Sarah Birungi enfiirabulago
Jimmy Katumba n’Elly Wamala muzeeyi wa kazi, oh!

Obwezinge ne nsigala
Bwentyo kunyeenyanga mutwe
Eteri tegero kwendisena
Ky’enva namuza ku gwayidde
Naawe endongo bw’evuga ojjanga
Munnange ne tunyeenyaamu
Obulamu n’obuweezaako
N’ebirowoozo ne biwummulamu
Endongo bw’evuga ojjanga
Munnange ne tunyeenyaamu
Obulamu n’obuweezaako
N’ebirowoozo ne biwummulamu

Kati nze bwe nkola bwenti
Ne nkyusa ku bivuga
Ng’ompulira eyo
Kifunemu enjawulo
Eno ensi yo bw’etyo
Teri agiriko atajula
Eh tugiriko bukuliro
Bw’etyo yo mayitire
Ensi eno bw’etyo
Teri agiriko atajula
Eh tugiriko bukuliro
Bw’etyo yo mayitire

Twakyamako okubudama
Kuyite okwewogomamu ko
Aligiremeramu taliba
Bugenyi y’ensi eno
Eh tuwugamu mpugire
Teri agimanyiimu kituufu
Tuvubamu kulya buli
Tuginnyuka teri amatidde
Nze ne bwe nfuba okutereka
Zaagaana teziwera
Ne be mpola tebazza
Ziringa eziriko emmindi
Hmmm kale bwe mpakasa
Ne mbalamu ku ziwera
Nkowoola abanywanyi
Nga mbawaamu kunywamu

Bwe tulyekubagizanga
Bwe tulibitetenkanya
Bwe tulyewuunaganya
Nga lututuukiridde
Bwe tulyekubagizanga
Bwe tulibitetenkanya
Bwe tulyewuunaganya
Nga lututuukiridde

Gira gwe mpa guitar yange oh
Sure
Eeeeeh!

Ntera kuba musanyufu
Obusinga obudde
Leero bwe buziba
Ku by’enkya simanyi bulungi
Kale era bwe bulikya
Ngya kulabira awo
Y’agera Mukama
Nannyini obuyinza
Gwe bw’oba wamusaba bitaano
N’akuwaako ebibiri
Dear matirira awo
Eriyo abalina e zero
Eh n’ozaala ku mwana
Eh ate ne gukula
Nga n’abato basoma
Kye nali ssirowooza ekyo
Leero wali erinnya
Nina emikwano
Omutima ssirina mubi
Nze n’abanvuma balabye
Bamanyi nno okutegeya
Mbu gamuwedde oyo
Gw’ataninnye gye gaava
Ompimira otya we gakoma?
Bakale mutunyumye nnyo
Ffe tulina bye tukola
Nze obwo ssibulina obudde
Obw’eŋŋambo okutayiza
Eno guitar yange
Mu ddoboozi lyayo eggwomu
Leka nyeenye ku galiba
Enjole nga lungolodde

Situkamu munywanyi (eeh)
Tunyeenye ku galiba
Amagumba gano (galiba yigiyigi)
Yigiyigi amagumba (eeh)
Ganyegenya galagula kye galiba
Amagumba gano oh (galiba yigiyigi)

Mundeke ngakyuse (eeh)
Nga gakyakyuka
Amagumba gano (galiba yigiyigi)
Mundeke ngawatanye (eeh)
Sigakunya kukutula
Amagumba gano (galiba yigiyigi)

Bampe ngakyuse (eeh)
Nga gakyakyuka
Amagumba gano (galiba yigiyigi)
Munnange waliyo obudde (eeh)
Obw’ogasiba ng’aganaatoloka
Amagumba gano (galiba yigiyigi)

Agange ka ngatagaze (eeh)
Nga gakyatagala
Amagumba gano (galiba yigiyigi)
Sirina kwe neebuuza (eeh)
Nkekkereza biki ebyo?
Ate oba galiba
Galiba yigiyigi

Yigiyigi amagumba (eeh)
Amagumba gano
Galiba yigiyigi
Galiba yigiyigi
Galiba yigiyigi
Galiba yigiyigi
Galiba yigiyigi (oh)
Galiba yigiyigi

Repeat till fade

Submit Corrections