Oooh
Hmmm
Ebizibu waliwo lwe binnumba
Nga sirina kya kola
Ne mpita Katonda
Mukama n’onnyamba, eeh eh
Katonda gwe nsinza
Olina ebitiibwa aah
Y’ani alikunkyaya? Eeeh eh
Nze nnali ku kisenge
Omuntu atalina ddembe okuggyako endwadde
Yeggwe waleeta eddembe, eeh eeh
Ku lw’obulamu bw’ompadde
Nzize nkusiime eeh
Weebale nnyo munnange, eeh eh
Nja kugamba bannange
Nti Katonda Kitange y’alabirira ebyange
Bye nnina nze bannange
Katonda Kitange
Nsiimye (nsiimye)
Wanzigya e Misiri n’ondaga ettaala
Mukama nsiimye (nsiimye)
Toggyanga okwo Katonda
Nsiimye (nsiimye)
Nsiimye bongerwa Katonda
Mukama nsiimye (nsiimye)
Eeeh
Olw’omukwano gw’ondaga
Bwe sisiima gwe mbeerako ekikyamu
Kkiriza okusiima kwange eeh, ooh
Ndabirawa gwe munnange
Atalina bbala, yadde olufunyiro
Okusembeza omuntu nga nze, eeh eh
Nsaba ekitiibwa nkuwe
Mmanyise bannange nti gwe asinga
Gwe kirabo kye ntutte, eeh
Ensi eno bwaguuga
Ogikwata n’omukono gwo gumu, n’ositula
Gwe Katonda ow’amaanyi, eeh yiii
Nja kugamba bannange
Nti Katonda Kitange y’alabirira ebyange
Bye nnina nze bannange
Katonda Kitange
Nsiimye (nsiimye)
Wanzigya e Misiri n’ondaga ettaala
Mukama nsiimye (nsiimye)
Toggyanga okwo Katonda
Nsiimye (nsiimye)
Nsiimye bongerwa Katonda
Mukama nsiimye (nsiimye)
Eeeh
Oooh
Oooh
Oh Yesu munnange (gwe wange)
Weebale (gwe wange eeeh)
Okundiisa n’okunnywesa (weebale, weebale)
Weebale, weebale Katonda
Munnange weebale (ooh, weebale)
Oli w’amaanyi (ooh)
Otwala obwavu, otwala endwadde
Otwala ennaku (oh weebale)
Weebale (weebale)
Gw’asinga bonna (weebale ooh)
Yeggwe yeggwe, nkukkiririzaamu
Gwe munnange (weebale)
Yeggwe annyamba (weebale)
Gw’amponya accident (owangaale)
Weebale nnyo (weebale)
Weebale (weebale, weebale)
Weebale (weebale eeh)
Gwe munnange (weebale)
Yeggwe munnange (weebale)
Yeggwe ssuubi lyange (weebale)
Teri akusinga (weebale)
Osaanidde (weebale)