Hmmm
Oooh
Osobola

Mw’ezo embuyaga ezikunta kale
Mwenandibaliddwa olwaleero
Emitego gy’ombusizza nkumu
Oh Mukama!
Akafaananyi kali nga ndi bubi
Bwenkajjukira olwaleero
Ekitiibwa nkikuddiza
Tegulojjeka omukwano gwo
Nze Mukama wanzigya ku mugongo
Kati ontuuza n’abakungu
Wanneerabiza emyaka
Giri egy’okusinda
Bangobaganyaga wano ne wali
Mujjanannyina agende gy’azaalwa
Bampisa bubi
Bangobera muli
Saalina mugaso gyebaali
Naye ate onnewuunyisizza!
Laba Mukama bw’ontuusizza!
Obunyizza abasekerezi
Abaayongeranga nti sirina kyendi

Nze ku bino by’ompadde, nsiimye
Ndeese kwebaza, ompadde
Okakkanyizza enfuufu y’omulabe wange
Ali wansi wa bigere byange
Mazima onkuumye nnyo, nsiimye
Ooh, onkuumye
Ontaasizza
Okakkanyizza enfuufu y’omulabe wange
Ontaasizza Mukama
Uuh

Waliwo luno luno
Olwali luntutte
Obumwa bw’ekkomero nga bunneesunze
Nga buli omu agusalira nze
Nga ne bemanyi bakuba kalyonso
Mikutu gyonna gyogera kunze
Abo ab’ensaalwa nga balwesunze
Olwo olulikomya obulamu bwange
Naye wanzigyayo Mukama
Osalira ensonga
Amanyi amazima tagulirirwa wamma
N’okutukwo okwo okutazibye
Eri essaala ntonotono mu kasirise
Omukonogwo, ogutayimpiwadde
Gwandokolayo
Mukama ogwana kuyimusa ogwana
Ogwana kusinza ogwana

Fees ez’okusoma nga magero
Lwenzinfunye zijja n’ebigambo
Naye wanjuna, ppaka lwenamalako, uuh
Wakati mu mafumu g’ebigambo by’abange be manyi!
Nakati bakola bukubilirire
Okulaba nga nsaanawo

Gwe okyantaasa, nsiimye
Gwe wantonda, ompadde
Gwe onwanira
Ku bino by’ompadde
Aah aah ah
Okakkanyizza
Eeh eeh
Yeah eeh

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *