From the start of my life
Gwe wategeka buli kimu bwekiriba
N’erinnya lyange
Gwe wagereka buli kimu ekyo kye ndaba
Ngira era ne neebuuza
Ye omukwano gwava wa?
Ogutugatta nze naawe
Y’ate nkusiime ntya
Olw’ebirungi by’onkolera?
Ayi Katonda, oh!
Yeggwe ntandikwa y’abatalina capital
Mukama nga wooli (nga wooli)
Nsula ndi mugumu nebwessiba na mufaliso
Mukama nga wooli (nga wooli)
Ekiddukiro kyange
Gyenfunira okuwona nga banzinzeeko
Gwe mulwanyi wange
Nantameggebwa taata nga bimpeddeko
Abalala bagende, Mukama osigale
Mu mutima nsanyuke
Abalala basigale, Mukama ogende
Emirembe gibule, ooh

All I wanna say
Thank you Father
(Nsiima, nsiima)
Mukwano gwange
Nsiima nnyo by’okola
(Nsiima, nsiima)
Gwe Kitange
Weebale annwanira (weebale)
(Nsiima, nsiima)

Nfissaayo akadde
Nentunulako mu album yange
Mu bifaananyi ebikadde
Amaziga negannyunguka
Neewunya Katonda
Taata gye wanzigya wala nnyo
N’otema ekkubo mu lukoola
Taata nootandekerera, kufa na kuswala
Obubenje ku kkubo
Mbulabye nga mbubuuka
N’ompanirira, oh kuno kusiima nnyo
Thank you, thank you Father (weebale, weebale)
Asante, asante Baba eh (asante)

All I wanna say
Thank you Father
(Nsiima, nsiima)
Mukwano gwange
Nsiima nnyo by’okola
(Nsiima, nsiima)
Gwe Kitange
Weebale annwanira
(Nsiima, nsiima)

Mpaayo obulamu
Oba nga kye nina okuwaayo okukwebaza
Eddoboozi lyange (ddoboozi lyange)
Litendenga erinnya lyo mu mawanga
Abato, abavubuka, abakadde n’abakootakoota
Mujje eno, tumutende eh
Hossana, Katonda ali waggulu eyo
(Hossana, hosanna)
Yeggwe Katonda, wekka agonza ebikaluba
(Hossana, hosanna)
Osumulula, oyamba bangi abanafu ayi Katonda
(Hossana, hosanna)

All I wanna say
Thank you Father
(Nsiima, nsiima)
Mukwano gwange
Nsiima nnyo by’okola
(Nsiima, nsiima)
Gwe Kitange
Weebale annwanira
(Nsiima, nsiima)

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *