Nalyoka ne nkusenga gwe
Omulokozi Katonda
Kye nvudde nsanyuka nnyini
Ne njatula bwe nsanyuse
Nsanyuse, nsanyuse
Yesu yannazaako ebibi
Y’anjagaza by’ayagala
Ansanyusa ennaku zonna
Nsanyuse, nsanyuse
Yesu yannazaako ebibi
Namusenga naatangoba
Nze ndi wuwe naye wange
Yampita ne nditegeera
Ddoboozi lye nga lya Yesu
Nsanyuse, nsanyuse
Yesu yannazaako ebibi
Y’anjagaza by’ayagala
Ansanyusa ennaku zonna
Nsanyuse, nsanyuse
Yesu yannazaako ebibi
Edda nasagaasagana
Kakano nteredde ku ye
Sikyamusenguka alina
Mukama y’alina byonna
Nsanyuse, nsanyuse
Yesu yannazaako ebibi
Y’anjagaza by’ayagala
Ansanyusa ennaku zonna
Nsanyuse, nsanyuse
Yesu yannazaako ebibi
Nalayira nti ndi wuwo
Nakyogeranga bulijjo
Era bw’alijja Mukama
Ndisanyuka okuba owuwo
Nsanyuse, nsanyuse
Yesu yannazaako ebibi
Y’anjagaza by’ayagala
Ansanyusa ennaku zonna
Nsanyuse, nsanyuse
Yesu yannazaako ebibi
Thanks for posting this lyrics