Nnyanjala Lyrics – Brian Lubega
Ng’oluyimba lusirise
Ng’ebitiibwa biweddewo
Ng’enjuba tekyayaka
Ndisigala nkwesiga
Kuba oli mwesigwa
Ng’ebirungi tebirabika
N’emikwano giri wala
Ng’amaanyi tegawera
Ndisigala nkwesiga
Kuba oli mwesigwa
Ka nnyanjale omutima gwange gyoli (gyoli)
Nembeke ebirungi by’olina
Kuba bye njoya, biri munda mu ggwe
Ka nnyanjale omutima gwange
Ka nnyanjale omutima gwange gyoli (gyoli)
Nembeke ebirungi by’olina
Kuba bye njoya, biri munda mu ggwe
Ka nnyanjale omutima gwange
Mu biro eby’amawulire amabi
Ng’ensonyi lwe lugoye lwange
Ng’emmambya tekyaseka
Ndisigala nkwesinga (eeh)
Kuba oli mwesigwa
Ng’ekkubo lyange likomye
Ng’ensozi ze ndaba
Ng’amakoola gange gawotoka
Ndisigala nkwesiga (ooh)
Kuba oli mwesigwa
Ka nnyanjale
Ka nnyanjale omutima gwange gyoli
Nembeke
Nembeke ebirungi by’olina
Kuba bye njoya nze
Kuba bye njoya, biri munda mu ggwe
Nnyanjala, ooh
Ka nnyanjale omutima gwange
Ka nnyanjale
Ka nnyanjale omutima gwange gyoli
Nembeke
Nembeke ebirungi by’olina
Kuba bye njoya nze
Kuba bye njoya, biri munda mu ggwe (eeh)
Ka nnyanjale omutima gwange
Yeah eeh
Nnyanjala omutima gwange
Ooh bye njoya biri mu ggwe
Bye njoya, mu ggwe (eeh)
Ka nnyanjale omutima gwange
Emiyaga nebwegisituka
Ndisigala nze nkwesiga yeah eeh
Ndisigala nkwesiga (eh)
Kuba oli mwesigwa
Bye njoya biri munda mu ggwe
Bye njoya, mu ggwe (eeh)
Ka nnyanjale omutima gwange
By’otuwa bikkusa
By’ogaba bimala
Bye njoya, mu ggwe (eeh)
Ka nnyanjale omutima gwange (ooh)
Bye njoya biri mu ggwe
Bye njoya, mu ggwe (eeh)
Ka nnyanjale omutima gwange
Ka nnyanjale
Oli maanyi gange
Oli ssuubi lyange
Bye njoya, mu ggwe (eeh)
Ka nnyanjale omutima gwange
Bye njoya biri mu ggwe
Ka nnyanjale omutima gwange