Twatandika bangi olugendo lw’obulokozi luno
Abaana ba Mukama
Bwali bujulizi bwennyini
Mukama enjegere, yali azikutudde eeh
Baasanyukira wamu, baayimbira wamu
Oluyimba lwa Mukama
Katonda bweyasuubiza okununula abantu be
Yali akikoze
Naye nno maama (olugendo lwali luwanvu)
Luwanvu eh (ebisoomooza bingi)
Oh, batambula, tebatuuka
Kyokka bali mu ddungu
Eddungu eryo (eddungu si lyangu)
Teba mazzi (ebisoomooza bingi)
Oh, baamaliriza beegomba ekkomero mwebaava!
Awaali amazzi

Nze nnyamba (nnyimbenga)
Siddayo eyo (nnyamba)
Kannyimbe (nsinzenga)
Yesu (Yesu, mbeerenga mu kifuba kyo)
Bwendiba ntambula (nnyamba)
Ntambule naawe (ntambule naawe)
Mpummulenga
(Nnyamba, mpummulire mu ggwe, Yesu)
Oooh oh (nfunira ekifo)
Taata (mu mutima gwo ooh)

Twatandika bangi olugendo lw’obuweereza luno
Abaana ba Mukama
Bwali bujulizi bwennyini
Mukama enjegere, yali azikutudde eeh
Twasanyukira wamu, twayimbira wamu
Oluyimba lwa Mukama
Katonda bweyasuubiza okununula abantu be
Yali akikoze
Naye nno maama (olugendo lwali luwanvu)
Ooh oh (ebisoomooza bingi)
Bingi

Tuweereza, mu nsi eno enzibu
N’ebikemo weebiri
N’oweereza Mukama
Nga tolina na mwami mazima
N’oweereza Mukama
Ng’ennyumba bakubanja!
Baamaliriza beegomba ekkomero mwebaali!
Awaali amazzi
Abalala baamaliriza beegomba ensi gyebaava
Awaali ensimbi

Nze nnyamba (nnyimbenga)
Kannyimbe (nnyamba)
Mu nsi endala eyo (nsinzenga Yesu)
Kansinzenga (mbeerenga mu kifuba kyo)
Ntambule naawe (nnyamba, ntambule naawe)
Mpummulire mu ggwe
(Nnyamba mpummulire mu ggwe)
Eeh eh
(Yesu, nfunira ekifo mu mutima gwo ooh)

Laba abantu be walokola
Abantu be wayamba luli, baakuvaako
(Beerabira batya!)
Mazima (omukono gwa Mukama)
Abantu be wafiirira
Be wanunula, baakuvaako!
(Beerabira batya!)
Beerabira batya! (omukono gwa Mukama)
Eeh, baamaliriza beegomba ekkomero mwebaava
Awaali amazzi

Nze nnyamba aah (nnyimbenga)
Yesu (nnyamba)
Nnyamba (nsinzenga Yesu)
Mbuliddwa (mbeerenga mu kifuba kyo)
Bwemba ntambula (nnyamba ntambule naawe)
Mpummulire mu ggwe
(Nnyamba mpummulire mu ggwe)
Awo (Yesu, nfunira ekifo mu mutima gwo ooh)
Taata nnyamba (nnyimbenga)
Kannyimbe (nnyamba)
Bulijjo (nsinzenga)
Mpanike emikono (Yesu, mbeerenga mu kifuba kyo)
Taata, ntambule naawe
(Nnyamba, ntambule naawe)
Buli kyenkola taata
(Nnyamba mpummulire mu ggwe)
Mpummule
(Yesu, nfunira ekifo mu mutima gwo ooh)

Yesu, nfunira ekifo
Mu mutima gwo ooh oh

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *