Nkyakujjukira Lyrics – Mowzey Radio ft. Rocky Giant

Yeah
Hmmm

Radio
Mukwano bwe neebaka
Ennaku zino ssikyaloota
Nkuwunyiriza mu nnyindo
Nasigaza akawoowo ko
Mukwano bw’oba ombalira
Mu bantu b’oyagala
Ombalira mu basembayo
Oba ombalira mu basookera ddala?
Kati nkulowooza, era nzijukira
Bye twali twegamba
Nga twesuubiza munyenye kuziwanula mu ggulu
Kusiikiriza njuba, hmmm!
Ebirowoozo ebyo ebirungi wabyerabira otya?
Omukwano gwo omuwoomu wagukweka wa?

Radio
Simanyi oba onzijukira naye nze
Nkyakujjukira nnyo
Simanyi oba omissinga naye nze
Nga nkumissinga nnyo
Simanyi oba onzijukira naye nze
Nkyakujjukira nnyo
Simanyi oba omissinga naye nze
Nga nkumissinga nnyo

Radio
Oh na oh na oh na na eh
When you said that
You wanted to run away
I didn’t know that
You wanted to find a way out
You promised
You and I were meant to be
We were meant to be
When you changed that
This love fell apart, yeah yeah
Kirabika luli bwe nakunyiiza ow’omukwano
Wanyiigira ddala ddala
Nebwengezagezaako okwetonda
Mukwano, wafuna omulala
Kirabika wanneerabira
Ennaku zino, tokyanneeyunira
Nkunoonya njagala nkukwateko
Naye ennaku zino tokyalabikira ddala

Radio
Simanyi oba onzijukira naye nze
Nkyakujjukira nnyo
Simanyi oba omissinga naye nze
Nga nkumissinga nnyo
Simanyi oba onzijukira naye nze
Nkyakujjukira nnyo
Simanyi oba omissinga naye nze
Nga nkumissinga nnyo

Rocky
Sandyagadde sandyagadde mwanawattu n’onsazaamu
Na bino nze bye nina plan zaali za wamu
Nga nkuyita kibunoomu
Kuba nakwagalanga bw’omu
Twalimanga babiri eyo emmanga mu lusuku
Ne tusimba lumonde, muwogo gattako amayuuni
Kati amakungula nze gaagano ngakungula omu
Navanga ku ttale eyo okusiba kali akate kaffe
Kali ke twakamanga ne tunywa ka chai kaffe
Nzijukira akapeera n’akayembe bye naleetanga
N’obutuntunu bwe twanoganga ku ttale
Kati kye nkusaba gwe weekube mu mutima
Era nga bw’opimapima olugendo gye tuvudde
Sisobola siyinza
Siyinza era sisobola
Kuwa akadakiika wadde akamu okwerabira
Nteekera omutima mu bed cover
Togufuuyisa mpewo guteeke mu undercover
Bwe nzibiriza nze nkulaba mu kibira
Okutte n’akawojjolo akasingayo okunyirira
Olwo bwe ntunula ne nkulaba ng’omwenya
Ng’otambulira wali ku lubalama lw’ennyanja
Ate nno bwe nsisimuka ne mpulira eddoboozi lyo
Ng’ompita mpola mpola okuva mu bwengula
Oh naye nakwagala nnyo simanyi oba ojjukira
Nkimanyi ndi musobya manya teri atuukiridde

Radio
Simanyi oba onzijukira naye nze
Nkyakujjukira nnyo
Simanyi oba omissinga naye nze
Nga nkumissinga nnyo
Simanyi oba onzijukira naye nze
Nkyakujjukira nnyo
Simanyi oba omissinga naye nze
Nga nkumissinga nnyo
Simanyi oba onzijukira naye nze
Nkyakujjukira nnyo
Simanyi oba omissinga naye nze
Nga nkumissinga nnyo

Submit Corrections