It’s a bad man style
It’s a Crouch style
It’s a Goodlyfe style
Haha kill ‘em, kill ‘em
Oh, I need you sister me need you
Me need you brother me need you
Me need you friend me need you (yeah)
You know I can’t live without you (yeah)
Tell dem
Radio
Omusomesa asomesa omusawo
Omusawo atukuba akayiso
Tukule tugulire jajja akafaliso
Jajja atunge emidalizo
Emidalizo ku gomesi ya mummy
Amapeesa ku kkanzu ya daddy
Daddy azimbe ennyumba bbiri
Mummy atunde ente n’embuzi
Embuzi tuzitwale ku butcher ewa Sula
Sula afune eza ba Najjuma
Ba Najjuma bano aba muliraanwa
Bakwano ba Asante ne Abba
N’ekibatu ekya kkono tekikuba mu ngalo kyokka aah
Bw’okulembera nga ngoberera ntwala aah, eeh
Radio
Nkwetaaga
Naawe onneetaaga
Twetaaga buli omu
Yeetaaga munne
Nkwetaaga
Naawe onneetaaga
Twetaaga buli omu
Yeetaaga munne
Weasel
Bwe tukwatagana tukizimba
Twawukana abalala, bakiyoola
Ssekinnoomu bamunyooma
Kamukamu gwe muganda
Nga sseminti na nkokoto
Ng’emisumaali n’embaawo
Ekyangwe okuuta mu mugongo
Teweekuusanga omunnyango
Maama kabaani ku ndongo
Kankutwale mu ndongo
Njagala nkunyiwe obusomyo ho!
Ppaka mu nnyingo
Njagala nkwambaze engatto
Nkutwale mu ndongo
Njagala nkunyiwe obusomyo gwe!
Ppaka mu nnyingo ooh!
Radio
Nkwetaaga
Naawe onneetaaga
Twetaaga buli omu
Yeetaaga munne
Nkwetaaga
Naawe onneetaaga
Twetaaga buli omu (uh la la)
Yeetaaga munne
Both
Nze kansime ebinnya gwe nga bw’ozimba
Tufuneyo manure okuva ewa muliraanwa
Muliraanwa alinayo ebisolo by’abadde alunda
Nga bulijjo anoonya manure gyanamudumpinga
Manure gwanadumpinga tuyinza okumukozesa
Tugimuse ebisagazi tulifuna gwe tulibiguza
Like a mother needs a father to mother you
Like a brother needs a sister ah
A brother needs somebody sick to heal ah
We need each other
Everybody needs one another
You’re my sister, you’re my brother
No one should hurt one another
You’re my father, you’re my mother
Everybody needs one another
Like birds of a feather together (we need each other)
Radio
Nkwetaaga
Naawe onneetaaga
Twetaaga buli omu
Yeetaaga munne
Kati oli bw’ayimba tumuwagire
Nkwetaaga
By’ayimba n’abalala bibanyumire
Akuŋŋaanye ensimbi bamusasule
Sseminti gw’otunda amugule
Ekiyumba kye eky’enkoko akimale
Amagi ag’enkoko atunde
Revenue omusolo ecollectinge
Kati oli bw’ayimba tumuwagire
By’ayimba n’abalala bibanyumire
Akuŋŋaanye ensimbi bamusasule
Sseminti gw’otunda amugule
Ekiyumba kye eky’enkoko akimale
Amagi ag’enkoko atunde
Revenue omusolo ecollectinge