Davi Lutalo

Baby on’ondekera ye ani?
Kuba naloose osibye ogenze
Mazima ne nsigala awo nga nkaaba
Ng’obimaze ondese onkyaye
Walayidde n’okomba ne paasi
Mbu bw’olinzirira oliba owenze
Kati nze naakikola ntya?
Ng’ondese eno gwe oli eyo ?
Omukwano gwe nzize ntangilira
Ng‘odibaze oyiye awo !
Kati ŋŋumyako, bambi
Wakiri, hani
Nsuubizaako nti kaabe ani
Tolindeka mummy
Onnafuya omutima
Simanyi na bwe naakola!
Emmere bwe ngikoza
N’ennemerera okuluma, eh

Onteekako akamwenyu baby sikusaagisa
Nkwagalira ddala
Ofumba n’ojjiisa laavu n’empoomera
Nkwagalira ddala
Bambi nteresa omutima obulwe ekirikutaagula
Nkwagalira ddala
Oh oh oh, oh oh
Nkwagalira ddala

Nze ndibeera bwe ntyo ppaka
Sirikyusa bambi totya
Ebyandikuleese amaziga
Byakala bye nasooka otema
Laavu yo y’embunya emiwabo
Enkutte ennyize obulago
Era njagala tutte omukago
Mu kintu twongeremu ebisoko
Kiggumize, munnange
Nti mu bonna walonda nze
Laavu yo ensingira ssente
Eŋŋonza nnyo endebeza enkende
Kwegamba mbeera awo bwe ntyo
Nga siva mu birooto
Nina laavu nyingi ffogo
Nyongera nno omukwano
Topimira kajiiko
Tokodowala kuba gwe nsulo
Eh, leka ebirala mpaamu omukwano
Kwata wano eh
Ndaluka tolowooza nti kyejo
Nfuuwaako mu liiso eh

Ayagala otwawula apaana
Tuli katungulu na nyaanya
Talitunula walala yagaana
Ozannya na muliro osaaga
Ffe laavu katugirye nga tennawola
Tubalekerewo bukunkumuka
Nkyakwagala nnyo tebannaluba
Mu musana ne bw‘eriba nkuba
Ono ankekemya ng’obukoko
Ansiisirizaako akazigo
Y’ammagusa nga zonto
N’anfaananya nga gentle
Sweet potato, mango
My tomato, bongo
Y’anteredde mu bwongo
Y’ammulisiza candle
Eh, wabula ntaamye today
Omukwano guleete eno
Laavu entembye omutwe
Ay yeah yeah yeah
Eh eh eh
Bambi mwenya ndabe
Omukwano guleete eno
Bambi genda ojjule
Oh yeah yeah
Eh eh eh
Eh eh
Eh eh
Oh yeah yeah

Submit Corrections

2 thoughts on “Nkwagalira Ddala Lyrics – David Lutalo”

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *