One Blessing, made it

Ekiddedde kinkanze
Yandiba omwagalwa
Nz’eno ensonyisonyi zimpambye, uh
Nze n’entegetege zinfambye
Ekisulo kya kkono kyasuze kinsula
Tekiba nga baamuliddewo owange
Mukwano oli wala naye nnyamba
Onkubireko mmanye nti gyoli
Nze mpaayo ddakiika ssatu oba nnya
Omutima gugume natidde nnyo

Nkimanyi oli wala nnyo eyo naye eno nkulowoozaako
N’amasimu genkukubira mba nkusubwa nnyo
Yadde nkimanyi oli wala nnyo nkulowoozaako
Era amasimu genkukubira mba nkusubwa nnyo

It’s true abalala tebakunjagaliza
Baagala kimu ogende
Balina plan emu baagala kukweddiza
Ondeke wano nswale
Naye kino sikikkiriza
Okumutwala atleast nsiba omutima
Ssiri mulwanyi namige naye aah ah
Nja kupangisa abalwanyi ba Kabaka
Mukwano oli wala naye nnyamba
Onkubireko mmanye oba gyoli
Nze mpaayo ddakiika ssatu oba nnya
Omutima gugume natidde nnyo

Nkimanyi oli wala nnyo eyo naye eno nkulowoozaako
N’amasimu genkukubira mba nkusubwa nnyo
Yadde nkimanyi oli wala nnyo nkulowoozaako
Era amasimu genkukubira mba nkusubwa nnyo

Ekiddedde kinkanze
Yandiba omwagalwa
Nz’eno ensonyisonyi zimpambye, uh
Nze n’entegetege zinfambye
Ekisulo kya kkono kyasuze kinsula
Tekiba nga baamuliddewo owange, hmmm
Naye kino sikikkiriza
Okumutwala atleast nsiba omutima
Ssiri mulwanyi namige naye aah ah
Nja kupangisa abalwanyi ba Kabaka

Nkimanyi oli wala nnyo eyo naye eno nkulowoozaako
N’amasimu genkukubira mba nkusubwa nnyo (babe)
Yadde nkimanyi oli wala nnyo nkulowoozaako
Era amasimu genkukubira mba nkusubwa nnyo

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin