Nkomyewo Lyrics – Lady Titie

Nagenda mu nsi ey’ewala
Nga ndowooza ndifuna okubeerwa
Essanyu mu nsi eri linyuma
Abantu baayo bakwaniriza
N’owulira ng’atuuse mu bwakabaka
Anti buli kimu oba okifuna
Nga tolinda Katonda kukuwa mukisa
Opanga bibyo era n’ofuna
Nga tofuddeeyo kw’ani gw’olumizza
Kasita oyitawo
Naye, kye ntegedde
Waliyo Katonda eyali yandaba
Era, nkyusizza amaaso ngazze gyali
Eri eby’omubiri bye nfuna
Ng’eno omwoyo gwange bwe gufa
Kitange, nkomyewo okuva mu nsi ey’ewala
Tongoba ssebo

Nkomyewo nkomyewo munnange
Nkomyewo (eeeh)
Nkomyewo Mukama nkomyewo
Ebibi byange bitwakadde
Nkomyewo (biyitiridde)
Nkomyewo Mukama nkomyewo

Saasira empologoma ya Yuda
Nkomyewo (ooh)
Nkomyewo Mukama nkomyewo

Hmm neetonze neetonze munnange
Nkomyewo (nsonyiwa)
Nkomyewo Mukama nkomyewo

Ebirungi n’amasanyu ebiri mu nsi ey’ewala
Bingi nkumu
Ettutumu n’ensimbi
Ssaako n’okuwaanibwa abangi
Byandeetera okwerabira (aaah)
Katonda wange eyantonda
Nga ndowooza natuuka
Sikyetaaga namala
Naye leero omulabe ayagala mwoyo gwange wulira
Ng’eno, omulabe anteze amaggwa ssebo nzikirire
Naye munnange ntegedde
Nkyusizza olutambi Mukama
Ebigere binfamba
Mpanise emikolo nnyamba
Obugagga bwe bukoma
Tebugula bulamu butaggwaawo
Nkomyewo mpambaatira
Onsembeze wooli ayi Katonda wange

Nkomyewo nkomyewo munnange
Nkomyewo (eeeh)
Nkomyewo Mukama nkomyewo

Ebibi byange bitwakadde
Nkomyewo (biyitiridde)
Nkomyewo Mukama nkomyewo

Saasira empologoma ya Yuda
Nkomyewo (ooh)
Nkomyewo Mukama nkomyewo

Hmm, neetonze neetonze munnange
Nkomyewo (nze nsonyiwa)
Nkomyewo Mukama nkomyewo

Nkomyewo nkomyewo munnange
Nkomyewo (eeeh eh)
Nkomyewo Mukama nkomyewo

Nsaba ompooyewooye aba anuŋŋamya
Nkomyewo (Katonda wange)
Nkomyewo Mukama nkomyewo

Nali ŋenze mu nsi ey’ewala
Nkomyewo (Kano nsonyiwa)
Nkomyewo Mukama nkomyewo

Mangira gwe Katonda ow’ekisa
Nkomyewo (golola omukono onnyambe)
Nkomyewo Mukama nkomyewo

Bwotonnyambe, ani anannyamba?
Nkomyewo (obulumi mpulira nga bungi)
Nkomyewo Mukama nkomyewo

Nteeka nze mu kibatu kyo Mukama
Nkomyewo (onkweke awatatuuka mulabe)
Nkomyewo Mukama nkomyewo

Ensi ensekeredde Kitange
Nkomyewo (omulabe n’anjooga buli lukya, yii!)
Nkomyewo Mukama nkomyewo

Nkomyewo munnange
Nkomyewo (eeeh eh)
Nkomyewo Mukama nkomyewo

Nkomyewo Katonda wange
Eeeeh eh

Submit Corrections