Karitas
Talalalala
Talalalala
Hmmmm hmmm

Karitas
Olusozi lw’omukwano ndulinnyeko
Abalala mugira mukyalwambuka
Omuntu omutuufu ono gwempadde
Omutima gwange aligutuusa
Guno omukwano ndayira
Nkisimbako amannyo
Nti tegulifeedinga
Ebiritwawula tulibibuuka
Ffe tuli seminti na nkokoto
Kati kwata omukono
Osseeko akalabo
Nkusaba kabe k’akaweta
Olwo kabe ng’akalambe
Kendaga bano abalala
Omanyi gwe gyendi
Olinga switch
Eyakisa ettaala
Buli w’osembera wendi mwanagwe
Enzikiza ngigoba (Kario)

Karitas & Mayinja
Eh eh
Njagaza kajanja
Laavu yaffe bagikolemu eŋŋombo
Abaliwo wabule atusinga
N’abalijja bagisome mu butabo
Oh babe njagaza kajanja
Laavu yaffe bagikolemu eŋŋombo
Abaliwo wabule atusinga
N’abalijja bagisome mu butabo

Mayinja
Akamwenyuko gyendi mwanagwe
Kampummuza emmeeme
Buli lwempulira ku ddoboozilyo
Oh oh
Liringa lullaby
Bwetuba mu bantu ng’oyogera
Nnyamba onkube akaama
Sweetness eri mu ddoboozilyo
Ewulirwe nga nze nzekka
Kati kankuteeke ku kaato
Nkutwale kazinga
Nkunogere ekinazi
Omuntu omulungi alinga gwe
Tasaana lukale eh
Nkankusimbe ekikajjo
Onywemu ka juice
Nkuwe na guno omuyembe
Laavu yaffe kati esusse
Telumya na njala

Karitas
Hmmm
Kati ŋŋamba nti tolinkyawa
Era nsuubiza nti tolinvaamu
Bangi balinze okunsekerera
Mbu wankyaye eyo bakube kalyonso

Mayinja
Omutima gwo Kario gube wamu
Abo baleke bakube endere zaabwe
Gwe kola kimu kunjagala
Balilaba tetwekyawa balirungula
Omanyi gw’omukwano
Ngulina mu bungi
Ate nga gugwo
Siriguwa mulala
Oh wowowowowo
Abo bwe bawoggana bwebatyo

Karitas
Ekifo kyo mu mutima gwange
Sirikituuzaamu mulala
Nze naggulirawo gwe omu
Ne bw’oliba ofuluma sirikukkiriza

Talalalala
Talalalala
Hmmmm hmmm

Submit Corrections

2 thoughts on “Njagaza Kajanja Lyrics – Karitas Kario ft. Ronald Mayinja”

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *