Abange, abange
Njagala nnyimbe
Abange, abange
Njagala nnyimbire Omutanda
Mukoone mbalabe
Njagala nnyimbe
Mukoone embuutu
Njagala nnyimbire Omutanda
Kale munyeenye mbalabe
Njagala nnyimbe
Munyeenye ebiwato
Njagala nnyimbire Omutanda
Nga sinnaba genda wala
Njagala nnyimbe
Ka nsooke okulanya
Njagala nnyimbire Omutanda
Gusinze gusinze
Njagala nnyimbe
Gusinze bba ffe
Njagala nnyimbire Omutanda
Gusinze gusinze
Njagala nnyimbe
Gusinze musota
Njagala nnyimbire Omutanda
Musajja wo Semakula
Njagala nnyimbe
Mutabani wa Mpumbu
Njagala nnyimbire Omutanda
Muzzukulu wa Ssenkoole
Njagala nnyimbe
Ffe wano tuli bambowa
Njagala nnyimbire Omutanda
Yisaaka Kamya
Njagala nnyimbe
Yali mumbowa
Njagala nnyimbire Omutanda
Semakula Ssenkoole
Njagala nnyimbe
Naye yali mumbowa
Njagala nnyimbire Omutanda
Kisirikko Ssenkoole
Njagala nnyimbe
Jajja yali mumbowa
Njagala nnyimbire Omutanda
Ndi mwana w’e Sekiwunga
Njagala nnyimbe
Ndi mwana w’e Kapeeka
Njagala nnyimbire Omutanda
Mu Lunyiriri lwa Mazinga
Njagala nnyimbe
Mu Mutuba gwa Mukka
Njagala nnyimbire Omutanda
Mu Ssiga lya Kyabasinga
Njagala nnyimbe
Ayi nakiraba
Njagala nnyimbire Omutanda
Mu Kasolya k’Omutaka
Njagala nnyimbe
Katende Ndugwa
Njagala nnyimbire Omutanda
Lwa Ndugwa, Lwa Katende
Njagala nnyimbe
Bw’abirya bw’awoza
Njagala nnyimbire Omutanda
Sseruku lulengejja
Njagala nnyimbe
Simanyi lunangwira
Njagala nnyimbire Omutanda
Bwompa akawala ako
Njagala nnyimbe
Ng’ebbanja liwedde
Njagala nnyimbire Omutanda
Aah bwompa akenda
Njagala nnyimbe
Ng’ebyange biwedde
Njagala nnyimbire Omutanda
Ndi Muganda Nakabala
Njagala nnyimbe
Ndi Muganda Ggereggere
Njagala nnyimbire Omutanda
Ndi Muganda wawu
Njagala nnyimbe
Era neddira Lugave
Njagala nnyimbire Omutanda
Mwali Kabaka mwali
Njagala nnyimbe
Sseggwanga musota
Njagala nnyimbire Omutanda
Lukoma Nantawetwa
Njagala nnyimbe
Ggwe kiruma y’azaala
Njagala nnyimbire Omutanda
Nze njogera seekweka
Njagala nnyimbe
Ky’aŋŋamba kye nkola
Njagala nnyimbire Omutanda
Waalaalaala
Njagala nnyimbe
Woolooloolo
Njagala nnyimbire Omutanda

Wuuluuluuluulu
Weebale, weebale, weebale taata
Wuulululululu yi!
Wulira! Wulira!
Wuulululululu
Weebale taata

Ssebo nannyinimu
Njagala nnyimbe
Gusinze, gusinze
Njagala nnyimbire Omutanda
Obuganda busanyufu
Njagala nnyimbe
Kubanga wooli
Njagala nnyimbire Omutanda
Namunswa bw’abaamu
Njagala nnyimbe
N’enswa era zibuuka
Njagala nnyimbire Omutanda
Sseggwanga bw’eyogera
Njagala nnyimbe
Enseera ne zeeraga
Njagala nnyimbire Omutanda
Njagala era neebaze
Njagala nnyimbe
Abalwanyi abazira
Njagala nnyimbire Omutanda
Abazza ebyaffe
Njagala nnyimbe
Abange mwebale
Njagala nnyimbire Omutanda
Na buno nno obusigadde
Njagala nnyimbe
Nabwo mubutuddize
Njagala nnyimbire Omutanda
Bw’onsimba federo
Njagala nnyimbe
Eyo Master ey’omutima
Njagala nnyimbire Omutanda
Bw’onsimba akenda
Njagala nnyimbe
Obeera ozannye J
Njagala nnyimbire Omutanda
Eby’okuyomba bintamye
Njagala nnyimbe
N’okulwana bintamye
Njagala nnyimbire Omutanda
Fenna tuli bannayuganda
Njagala nnyimbe
Nsaba tuteese bulungi
Njagala nnyimbire Omutanda
Hmmm naye ate njagala mbayimbire
Njagala nnyimbe
Njagala mmuyimbire
Njagala nnyimbire Omutanda

Obadde ki ankoonerera?
Njagala nnyimbe
Obadde ki atatereera?
Njagala nnyimbire Omutanda
Ab’engabi abannyonsa
Njagala nnyimbe
Nnyabo Nalubega
Njagala nnyimbire Omutanda
Ab’Olugave muli mutya?
Njagala nnyimbe
Ab’Emmamba mugamba ki?
Njagala nnyimbire Omutanda
Ab’Effumbe muli mutya?
Njagala nnyimbe
Woolooloolo
Njagala nnyimbire Omutanda
Ab’Embogo abankuuma
Njagala nnyimbe
Nakaayi y’alitokosa
Njagala nnyimbire Omutanda
Akasimba mugamba ki?
Njagala nnyimbe
Ab’Enkima mubadde wa?
Njagala nnyimbire Omutanda
Ab’Engo mugamba ki?
Njagala nnyimbe
Ab’Eŋŋonge muli mutya?
Njagala nnyimbire Omutanda
Ab’Omutima mbayimbire
Njagala nnyimbe
Ab’Omusu ndaba ku ki?
Njagala nnyimbire Omutanda
Waalaalaala
Njagala nnyimbe
Woolooloolo
Njagala nnyimbire Omutanda
Ab’Enswaswa mugamba ki?
Njagala nnyimbe
Ab’Enjovu muli mutya?
Njagala nnyimbire Omutanda
Ab’Ente muli mutya?
Njagala nnyimbe
Ab’ennyonyi mugamba ki?
Njagala nnyimbire Omutanda
Ab’Envuma mugamba ki?
Njagala nnyimbe
Woolooloolo
Njagala nnyimbire Omutanda
Ab’Enswanswa muli mutya?
Njagala nnyimbe
Abalangira muli mutya?
Njagala nnyimbire Omutanda
Aah ab’Akatinvuma
Njagala nnyimbe
Empologoma mugamba ki?
Njagala nnyimbire Omutanda
Ab’Empeewo muli mutya?
Njagala nnyimbe
Ab’Ekkobe muli mutya?
Njagala nnyimbire Omutanda
Mwali Kabaka mwali
Njagala nnyimbe
Akaaba akaabe
Njagala nnyimbire Omutanda
Mpologoma
Njagala nnyimbe
Anyiiga anyiige
Njagala nnyimbire Omutanda
Musota
Njagala nnyimbe
Eyetta yette
Njagala nnyimbire Omutanda
Mwali Kabaka mwali
Njagala nnyimbe
Nnyimba nsanyuka
Njagala nnyimbire Omutanda
Mwali Beene mwali
Njagala nnyimbe
Nnyimba ncakala
Njagala nnyimbire Omutanda
Waalaalaala
Njagala nnyimbe
Woolooloolo
Njagala nnyimbire Omutanda
Woolo
Njagala nnyimbe
Njagala nnyimbire Omutanda

Kale toba munnange
Njagala nnyimbe
Gano obadde ogalaba?
Njagala nnyimbire Omutanda
Ben wali onnyoomerera
Njagala nnyimbe
Ab’e Buwaate otulabye?
Njagala nnyimbire Omutanda
Kazibwe wali onnyoomanga
Njagala nnyimbe
Ab’e Buwaate otulaba?
Njagala nnyimbire Omutanda
Toba munnange
Njagala nnyimbe
Gano wandibadde ogalabye?
Njagala nnyimbire Omutanda
Kale toba munnange
Njagala nnyimbe
Gano obadde ogalaba?
Njagala nnyimbire Omutanda
Toba munnange
Njagala nnyimbe
Gano wandibadde ogalabye?
Njagala nnyimbire Omutanda
Weebale taata

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *