Lydia Jazmine yeah eh
Artin on the beat

Ndi first born ataddibwako
Nze asooka siddibwako
Ssiri nga buli bu dummy (obwo)
Buli kaseera bubeera funny (obwo)
Nze nessaamu ku money (otyo)
Nnyirira kimuli ku ttale (awo)

Njagala nga bwe neeyagala
Sso ssi nga gwe bwe weeyagala
Mmatira nga bwe neematira
Sso ssi nga gwe bwe weematira
Njagala onjagale nga bwe neeyagala
Sso ssi nga gwe bwe weeyagala
Njagala ommatire nga bwe neematira
Sso ssi nga gwe bwe weematira aah

Nze ndi kimuli ekinyuma okutimba
Ninga ekikajjo omutali namujinga
Nze ndi mumbejja atamanyi bya kulimbwa
Ne ka figure akalungi akanyuma okutimba
Level
Kati njagala babuuze ekinnyiriza
Ekinfaananya Abangereza
Mbagambe sweetheart gwe nafuna
Yampa love nennyirira
Kati njagala ompise ng’omugole (njagala)
Njagala onkoleko emikolo (njagala)
Njagala nkulage abakulu (njagala)
Kati njagala ebikola amakulu

Njagala nga bwe neeyagala
Sso ssi nga gwe bwe weeyagala
Mmatira nga bwe neematira
Sso ssi nga gwe bwe weematira
Njagala onjagale nga bwe neeyagala
Sso ssi nga gwe bwe weeyagala
Njagala ommatire nga bwe neematira
Sso ssi nga gwe bwe weematira aah

Njagala omukwano ogunkeese
Ndyoke nkuwe ku mpooza
Kumukumu twesuube
Ebiddugadde nga mbyooza
Ndi kaana ka mummy (otyo)
Lwakuba nakula ne daddy (otyo)
Kati touch my body (awo)
Byawe my baby (otyo)
Nzenna ndi complete
Taste chocolate
Ndimu olumagnet (labayo)
Olusika gwe sweetheart yeah
Ndimu olumagne- (yeah yeah yeah)
Olusika gwe sweethear- (yeah yeah)
Ndimu olumagne- (yeah yeah yeah)
Olusika gwe sweetheart (yeah yeah yeah)

Njagala nga bwe neeyagala
Sso ssi nga gwe bwe weeyagala
Mmatira nga bwe neematira
Sso ssi nga gwe bwe weematira
Njagala onjagale nga bwe neeyagala
Sso ssi nga gwe bwe weeyagala
Njagala ommatire nga bwe neematira
Sso ssi nga gwe bwe weematira aah

I want you to love me
The way I love me
Can you love me?
The way I love me
I want you to love me
The way I love me
Can you love me?
The way I love me

Xtranation

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin