Teyali nze eyateesa nti onjagale hmmm
Teyali nze eyateesa nti onjagale
Wanjagala bwagazi
Teyali nze eyateesa nti onjagale
Bangoba be neesiga
Bannumya be nnayagala
Ekiro mu ttumbi bansuula
Mbu nsiraane
Mu kwagala kwo wannonda aah
N’ompangula aaah ah
N’ompangula

Njagala engeri gy’onjagala Mukama
Njagala engeri gy’ondabirira Mukama
Njagala engeri gye wafuukamu mukwano gwange
Njagala engeri gy’ondagamu ekisa kyo
Njagala engeri gye wanfiirira Mukama
Njagala engeri gye wafuukamu muzadde wange
Ate oba nze
Njagala engeri gy’ondabirira Mukama (oh ho)
Njagala engeri gy’olwanamu entalo (oh ho)
Njagala engeri gye wafuukamu muyambi wange
Laba laba laba nze
Nze ompangudde eeeh eh
Yesu wange
Ompangudde eeh
Ompangudde

Nze nandibadde nafa nafa (uuuh)
Luli lwe bannumba
Luli, luli (uuuh)
Lwe baŋŋamba nti nkomye (uuuuh)
Mazima natya
Ŋŋenda kufa (uuuuh)
Akaana kange, nkaleka ntya?
Bwe wamponya kw’olwo n’ompangula
Mukama
Nze nandibadde nagenda (uuuh)
Taata luli, oh
Luli (uuuuuh)
Emmotoka lwe yeefuula, oh (uuuh)
Mazima natya (uuuh)
Ŋŋenda kufa (uuuuh)
Mukyala wange, mmuleka ntya?
Bwe wamponya kw’olwo n’ompangula
Kyova olaba nkwagala

Njagala engeri gy’onjagala Mukama
Njagala, ssikulimba ssebo
Njagala engeri gy’ondabirira Mukama
Nkwagala, oli wange
Njagala engeri gye wafuukamu mukwano gwange
Wamala kumponya era wayamba
Njagala engeri gy’ondagamu ekisa kyo
Eeh eh, wafa ku lwange
Njagala engeri gye wanfiirira Mukama
Ndi mwana gyoli, ndi mwana taata
Njagala engeri gye wafuukamu muzadde wange
Laba, labayo n’ongabirira eh
Njagala engeri gy’ondabirira Mukama
Aah, tondese
Njagala engeri gy’olwanamu entalo (Yesu)
Njagala engeri gye wafuukamu muyambi wange
Gye wafuuka, muyambi wange, laba
Nze ompangudde eeeh eh (aaah)
Ndi wuwo nze
Ompangudde eeeh eh

Nzuuno, ndi wuwo, ndi wuwo, ndi wuwo
Ompangudde eeeh eh
Ku by’okoze, ku by’okoze nze ndi wuwo
Ompangudde eeeh eh
Ate nga, ompangudde

Submit Corrections

Leave a comment