Njabala Lyrics – Sammy Kasule

Njabala, tolinsanza omuko Njabala
Njabala, tolinsanza omuko
Njabala, tolinsanza omuko Njabala
Njabala, tolinsanza omuko

Bakazi balima bati ma
Osooka na kukabala eh
Olutema ng’oyanjala uh
Abaana bo nga basiga yeah yeah yeah
Ebibala ng’okungula uh
Olwo enjala ng’ekuwuguka ah
Musajja wo ng’asanyuka oh
Ng’obufumbo bunyuma uh
Omuwala Njabala
Wulira Njabala, aah

Njabala, tolinsanza omuko Njabala
Njabala, tolinsanza omuko
Wuuwi Njabala eh eh
Njabala, tolinsanza omuko Njabala
Maama Njabala ooh
Njabala, tolinsanza omuko

Tunuulira wuliriza ah
Obufumbo okukakata yeah eh
Beera nga mugumiikiriza, mwana wange
Musajja wo musanyuse naye akusanyusenga
Musajja wo mwesige naye akwesige
Alemenga kujulira, nedda nedda
Nti mukyala wange takola kino, takola kiri
Mwagale, omukkuse omukwano
Eh omuwala Njabala
Wulira Njabala, aah ah

Njabala wo
Njabala wange
Nkusabira Katonda mwana wange
Njabala wo (eh)
Njabala wange
Njabala wo
Akuwe emikisa n’emirembe mu maka go
Njabala wo
Nga naawe bw’osaba
Njabala wange
Njabala wo
Njabala ndere ku bazzukulu
Njabala wo (wuuu)
Njabala wange
Njabala wo

Njabala, tolinsanza omuko Njabala
Njabala, tolinsanza omuko
Njabala, tolinsanza omuko Njabala
Okuyomba tekubula anti mu maka
Njabala, tolinsanza omuko
Obufumbo bwebutyo anti bwe buba
Njabala, tolinsanza omuko Njabala
Bw’akusobya musonyiwe mubimale
Njabala, tolinsanza omuko
Bw’omusobya mwetondere asonyiwe
Njabala, tolinsanza omuko Njabala
Beera musanyufu gwe mu maka
Njabala, tolinsanza omuko
Mulage okwagala amatire
Njabala, tolinsanza omuko Njabala
Njabala ho, Njabala ho, maama Njabala hiihi
Njabala, tolinsanza omuko
Njabala he, Njabala he, wulira Njabala bambi
Njabala, tolinsanza omuko Njabala
Yagala musajja wo nga bwe weeyagala
Bikkula omutima gwo alabe omukwano gw’olina
Njabala, tolinsanza omuko
Beera wa mazima, beera wa kisa
Ky’asaba muwe, gwe toba mukodo

Njabala, tolinsanza omuko Njabala
Njabala wulira, kola ebikusaanira
Wooyawooya omwami wo
Mwagale musanyuse, musuute

Njabala, tolinsanza omuko
Muwooyewooye
Njabala, tolinsanza omuko Njabala
Wuuuuuuuu uh
Njabala, tolinsanza omuko
Wuuhu, wuuhu, wuuhu
Njabala, tolinsanza omuko Njabala
Wuuuuuuuu uh
Njabala, tolinsanza omuko
Wuuhu, wuuhu, wuuhu
Njabala, tolinsanza omuko Njabala

Submit Corrections