Eeh
It’s a Back to the Lord riddim
Mesach Ssemakula
Of Kann Records
Alongside Producer Renix
The Dancehall King DJ Michael
Aah

Nina mukwano gwange
Nina omukwano gwange
Yasooka okwagala nze
Yasooka okwagala nze
N’ampalula mu kisaakye
N’ampalula mu kisa
Ekyakkirizisa nze

Ani yali amanyi nti nange ndikyukako?
Omuntu eyali omunaku mazima ddala
Nze kyantuukako, nga ge nkaaba ge nkomba
Ne nfukamira, ne musaba
N’ampulira, n’anjatula
N’ankolako, embeera n’ekyuka
Ah naawe toggwamu maanyi
Toggwamu ssuubi
Yansumulula, ne nkusumulula
Yongera kumusaba
Kubanga teyerabira, woyi woyi…
Nange bwe mpimapima ennyo
Mu biwonvu mwe mpise
Olwo ne nkakasa nti nina omukwano
Kitawe neebaka
Nze bwe mba neebase ankuuma, ha!
I’ve got a friend
And his name is Lord
Michael omwetaaga mu byonna by’okola abeemu
(yeah man)
Sitaani tomwetaaga mu byonna by’okola aveemu
(okay)
We’ve got a friend
(okay)
Tumusinze obudde bwonna
I’ve got a friend
And his name is Lord
Hmm nina omukwano

Nina omukwano gwange yee
Yasooka okwagala nze
N’ampalula mu kisaakye
Eh, nze leka muyimbire
Come on come on
Come on come on

Nina omukwano, atandeka kukaaba
Nina omukwano, atajjulukuka
Nina omukwano, alabirira obulamu bwange
Anfaako, every day and night
Bwe nali nkaaba, yansagula amaziga gange
Bwe nali nsinda, n’akomyawo emmeeme yange
Bwe nali ndwala, n’annyiga ebiwundu byonna
I have a friend, and his name is Lord
Come on, come on
Come on, come on
Kati wuliriza
Ssikuperereza nali mu kizikiza
Ne nzikiriza,
N’anzikiriza
Nkujjukiza
Y’amaliriza ng’ate tasaliriza
Nze mwebaza ku byankoledde
Balabe bange
Famire yange
Mikwano gyange, hahaha

Nina omukwano gwange oh
Yasooka okwagala nze
N’ampalula mu kisa
Come on come on
Come on come on

Avoid trials and temptations (yeah man)
Is there trouble anywhere (hmmm)
We should never be discouraged
Take it to the Lord in prayer (hmmm)
Can we find a friend so mendful? (yeah man)
Who will all our souls share (hmmm)
Jesus knows her every weakness
Take it to the Lord in prayer (hmmm)
Hallelujah

Michael essada liveeko
Hmmm muzeeyi nditadde
Ayaa speed eyo mwana
Ayayaya kale muzeeyi
Michael ku Sunday mu church
Hmmm ffenna tumusinze
Eh! Eky’eŋŋuumi ekyo kibi nnyo
Hahaha
Michael nkugambye eky’eŋŋuumi kiveeko
Hmmm mpulidde taata
Eeh okulwana kubi nnyo
Aah ssibiddamu ebyo
Michael essada liveeko
Hmmm muzeeyi nditadde
Ayaa speed eyo mwana
Ayayaya kale muzeeyi
Michael ku Sunday mu church
Hmmm ffenna tumusinze
Eh! Eky’eŋŋuumi ekyo kibi nnyo
Hahaha
Michael nkugambye eky’eŋŋuumi kiveeko
Hmmm mpulidde taata
Eeh okulwana kubi nnyo
Aah ssibiddamu ebyo

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *